TOP

Nnumizibwa bwe nneegatta

Added 4th September 2013

Bwe mba nnumwa nga nnyumya akaboozi, okukavaako kinannyamba oba kyongera kuleeta buzibu?Bwe mba nnumwa nga nnyumya akaboozi, okukavaako kinannyamba oba kyongera kuleeta buzibu?

Simanyi oba oli mukyala oba oli mwami. Naye okusinga abakyala be bateera okulumwa.

Okulumwa nga weegatta ebiseera ebisinga singa tofuna bwagazi toleeta mazzi era obukyala tebuta bulungi. Kino kitegeeza nti agenda okwegatta naawe afuna obuzibu okuyingira obulungi. Mu mbeera eno mwana wange ofuna okunuubuka n’okulumwa nga weegatta.

Ate singa weegatta n’omusajja nga munene obulumi bubeera bwa maanyi.

N’ekirala mu bakyala abalina endwadde z’obukaba oyinza okufuna obulumi mu nnabaana oba mu bukyala nga weegasse.

Kale mwana wange oba oli mukyala genda mu ddwaaliro tomanya oyinza okubeera n’obulwadde mu bitundu ebizaala.

Naye ng’okusinga obulumi buva ku butafuna bwagazi ng’oli mukalu. Oba oli musajja era n’abasajja bafuna obulumi singa weegatta n’omukazi nga tafunye bwagazi.

Osobola okunuubuka oba n’okufuna obulumi anti tebibeera byangu. Kale mwana wange weetegereze oba munno abeera mukalu.

Naye obulumi singa obufuna mu ntuula weetaaga okulaba omusawo ku mbeera eno osobole okumanya ekituufu

Nnumizibwa bwe nneegatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...