TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obuteeyonja ng'oli mu nsonga kyandikulemesa okubuusa bbebi

Obuteeyonja ng'oli mu nsonga kyandikulemesa okubuusa bbebi

Added 10th September 2013

OMUKAZI okulemwa okukuuma obuyonjo mu biseera by’ensonga z’ekikyala kivaako endwadde y’ekigalanga.




JANE Nakawuka 37, omutuuze w’e Kasubi mu Kampala, agamba nti alumizibwa nnyo buli lw’abeera mu nsonga.

Agamba nti amala wiiki nnamba ng’alumizibwa era mu kiseera kino wadde musomesa tasobola kuyingira mu kibiina kusomesa.

Nakawuka agamba nti tazaalangako era talina musajja mu bulamu bwe. Alowooza nti bw’aba ayagala okuwona obulumi buno, alina okufunayo omusajja gwe yeegatta naye.

Dr. Musa Nkalubo owa Your Clinic ku Mwanga 11 Road, agamba nti emyaka Nakawuka gyalimu gya bulabe nnyo era nga giba ne mikisa mingi okufuna kkansa wa nnabaana.
“Nnabaana w’omukyala abeera mwetegefu okuzaala omwana okuva ku myaka 18 okutuuka ku 35, era ng’omukyala bwafunira olubuto ku myaka gino, omubiri gwonna guba gwetegese bulungi.

Emyaka gy’omukyala ono kyeraga nti gimuyiseeko nga tannazaala. Okuzaala kulina engeri gye kuzza omukyala obuto, era omuntu bw’afuna olubuto nnabaana akwata ekirira, ate bw’azaala agenda ayuza ebikusiro byonna ebiba bikwatidde ku nnabaana era ne kifulumya n’obulwadde obw’enjawulo.

Omukyala ono emyaka gy’alina kikola bubi okuba nga talina ngeri gy’akendeezaako ku kujja kwa musaayi, era obusimu obumuleetera okugenda mu nsonga tebuwummulamu, ekireetera omubiri okubeera nga tegweyagala bulungi.

Olw’okuba talina musajja wa nkalakkalira kyangu okuba ng’akyusakyusa abasajja nga bano bamuleetera okufuna endwadde z’ekikaba”, bw’annyonnyola.

Agattako nti abakyala abamu oluusi baggyamu embuto nga kino kisobola okumuleetera okufuna enkovu ku mumwa gwa nnabaana, oba nga nnabaana baamufumita ekituli.

Omukyala ono era kyangu okuba n’ebizimba mu lubuto. Dr. Nkalubo agamba nti Nakawuka ky’alina okukola kwe kutuukirira omukugu ku ndwadde z’abakyala (gynecologist) amukebere era amunyonnyole ensonga eziyinza okuba nga ze ziri emabega we kizibu kino.

Wabula kino ateekeddwa okukikola mu bwangu, kuba ekizibu kye kiyinza okubeera nga kinene.
Agamba nti ensobi abantu oluusi gye bakola kwe kukozesa eddagala ly’ekinnansi okukkakkana ng’ekizibu kyongera kukula.

OMUKAZI okulemwa okukuuma obuyonjo mu biseera by’ensonga z’ekikyala kivaako endwadde y’ekigalanga.
Okugenda mu nsonga ze ez’ekikyala kisuubirwa buli mwezi era eno y’ensonga lwaki buli mukazi akyali mu biseera ebirwala yandibadde yeetegekera akaseera kano okusobola okutangira ebizibu byonna ebiva ku buteerabirira bulungi.

Dr. Othman Kakaire omukugu mu mbeera z’abakyala akolera mu ddwaaliro e Mulago agamba nti obuwuka obusirikitu obw’ekika kya ‘Bacteria’ bwegiriisa nnyo mu kiseera kino era nti singa omukyala teyeefaako buyinza okumutuusaako obuzibu bungi omuli n’endwadde y’ekigalanga.

Kakaire agamba nti omukazi afunye endwadde y’ekigalanga afuna obuzibu mu nseke omuli okuzibikira n’okulumizibwa, ensonga eteeka emikisa gye egy’okulemwa okufuna olubuto waggulu.

OBUZIBU OBW’EKIKA KINO OMUKAZI ABWEWALA ATYA?

Kakaire agamba nti omukazi ali mu mbeera eno kimwetaagisa okunaaba emirundi egitakka wansi w’esatu olunaku.

Agamba nti singa tanaaba kutukula, omusaayi guno guyamba obuwuka buno okuzaalira ku misinde n’oluvannyuma ne busaasanira mu bitundu by’omubiri ebitali bimu naddala ebyo ebyekuusa ku kuzaala.

Ebintu bino agamba nti bibikosa mu ngeri ezitali zimu omuli okulya enseke ne zireetamu enkovu olwo ne zizibikira wamu n’okuvaako obulumi obutagambika.

Kakaire annyonnyola nti ebintu omukazi ali mu mbeera eno by’akozesa okusiba omusaayi guno nabyo byetaaga okwegendereza.

Annyonnyola nti eri abo abakozesa ebigoye ebya bulijjo kibyetaagisa okuba ebiyonjo obulungi wamu n’okubikyusanga oluvannyuma lw’ebbanga eggere.

Anyonnyola nti omukazi nga tannakozesa kigoye alina okukakasa nti kiyonjo. Agamba nti kya magezi okusooka okukigololako ne ppaasi oba okukyanikako mu musana okutta obuwuka.

Ate abakozesa ‘tampon’ Kakaire agamba nti kalungi kubanga kayamba omukazi obutakakyusa okumala ebbanga ate nga kanywa bulungi omusaayi.

Nti wabula obuzibu bwako bujja singa omukazi akeerabirayo okumala ebbanga erisukka mu wiiki.
Annyonnyola nti mu ngeri y’emu embeera eno eyamba obuwuka okukulira ku musaayi guno ne busaasaana. Kakaire agamba nti tekalina kusussa ssaawa 12 nga takakyusizza.

 

Obuteeyonja ng’oli mu nsonga kyandikulemesa okubuusa bbebi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...