TOP

Nkooye emiggo

Added 13th September 2013

Ssenga weebale emirimu. Nnina omusajja naye alabika tanjagala. Bw’anywa omwenge ang’amba mmuviire era oluusi ankuba emiggo.



Ssenga weebale emirimu. Nnina omusajja naye alabika tanjagala. Bw’anywa omwenge ang’amba mmuviire era oluusi ankuba emiggo.

Naye omwenge bwe gumuggwaako nga yeeyisa bulungi, naye oluusi ankuba. 

Ssenga nnyamba ku nsonga eno kubanga nkooye obufumbo buno. Ate bazadde bange bang’amba nveeyo kubanga nnina omulimu nsobola okubeerawo.

Mwana wange omusajja ono tolowooza nti ayogeza mwenge kubanga ‘omutamiivu tabaaga mbwa’. Nze kye ndowooza bazadde bo batuufu.

Omusajja ono takwagala era ayinza okukukola ekintu eky’obulabe ku bulamu bwo. Abasajja bangi abatamiivu oluusi bakozesa omwenge okutegeeza bakyala baabwe endowooza gye balina.

Mwana wange olina okwesonyiwa musajja ono akozesa mwenge okukubuulira bw’awulira mu mbeera y’obufumbo.

Omusajja ku mulembe guno omukubi oba omulwayi tasaana kubeera naye.

Ennaku zino abasajja abasinga bakimanyi nti omukyala awaka olina okumuyisa ng’omuntu.

Emirembe gy’obutamanya gyaggwaawo kubanga okusomesa abantu ku nsonga eno kungi.

Nkooye emiggo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chico ne mukazi we

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...