TOP

Kya magezi okuzaala nga tukuze?

Added 17th September 2013

Ssenga tuli bantu bakulu naye twagala kuzaala mwana. Nnina emyaka 50 ate omwami wange wa 70.



Ssenga tuli bantu bakulu naye twagala kuzaala mwana. Nnina emyaka 50 ate omwami wange wa 70. Abaana baffe abalala bakulu.

Baze alina abaana bataano ate nze, mukaaga. Ssenga olowooza kya magezi okuzaala omwana? Ye buzibu ki obuli mu kuzaala ng’okuze?

Okusookera ddala, mwana wange abasawo batuwa amagezi, omukazi okuzaala nga tonnaweza myaka 35. Ssinga osussa emyaka egyo, osobola okufuna ebizibu mu kuzaala ate era n’omwana gw’ozaala ayinza okubeera n’ebizibu.

Ekirala mwana wange omusajja ssinga aweza emyaka 70, amagi ge agazaala tegabeera malungi nga ag’omusajja omuvubuka.

N’ekirala mwana wange omwana ono gwe muzaala mumuzaalira ani? Omwana ono mulina ssente ezinaamusomesa?

Kubanga sisuubira nti mu myaka nga 30 mu maaso onoobeera n’amaanyi agalabirira omwana ono. Sigaanye mwana wange mwagala okuzaala naye nze mu kulaba okwange, omwana ku myaka gye mulina ate nga mulina n’abaana abalala si kya magezi.

Abantu balina endowooza nti obufumbo nga temuli mwana tebubeera bufumbo. Naye watya ng’ofunye olubuto omwana n’azaalibwa ng’alina obulemu, oba n’azaalibwa naye nga gwe akuggye mu nsi! N’ekirala okuzaala kulungi naye ng’olina obusobozi. Nze ndowooza omwana mumwesonyiwe.

Kya magezi okuzaala nga tukuze?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...