TOP

Ebintu 5 ebiggyamu embuto

Added 24th September 2013

ABAKAZI abawerako bafuna ekizibu ky’okuvaamu embuto ekintu ekikosa obulamu bwabwe n’embeera zaabwe mu ngeri ezitali zimu.



ABAKAZI abawerako bafuna ekizibu ky’okuvaamu embuto ekintu ekikosa obulamu bwabwe n’embeera zaabwe mu ngeri ezitali zimu.

Dr. Andrew Kaggwa akolera mu ddwaaliro e Mulago agamba nti embuto nnyingi zivaamu nga tezinnaweza wiiki 28.

Biki ebivaako embeera eno?
Dr. Kaggwa agamba nti waliwo abakazi mu butonde abalina omumwa gwa nnabaana omunafu ogutasobola kuwanirira mwana naddala ng’akuze.

Agattako nti omukazi ow’ekika kino yeetaaga okumanyibwa amangu ddala nga yaakafuna olubuto abasawo ne basobola okumuyamba.

Annyonnnyola nti ow’ekika kino bamusibako akaguwa ku mumwa gwa nnabaana ne bakasumulula ng’atandise okufuna ebisa.

Ebirala ebivaako embeera eno mulimu;
Omusujja. Singa omukazi afuna omusujja n’atajjanjabwa bulungi, obuwuka buno bwekweka mu mwana owookubiri ne bugabana ku mpewo ennungi, omusaayi n’emmere omwana bye yandifunye.

Omwana ow’ekika kino aba n’emikisa mingi obutakula era ekiseera kituuka n’alemererwa n’avaamu nga tannatuusa.

Obulwadde bw’ekikaba
Obulwadde bw’ekikaba omuli kabootongo, enziku n’ezo ezikwata mu nseke zizaala amasira agalobera omwana okwekwata obulungi ku nnabaana, n’akulira mu bbanga. Kino kitegeeza nti mu bbanga ttono omwana ono avaamu.

Endwadde z’olukonvuba nga puleesa ne ssukaali nazo zivaako nnyo embuto okubuukamu.Ebiseera ebisinga omukazi bw’afuna obumu ku bulwadde buno,omwana owookubiri akosebwa n’atasobola kuwanirira mwana.

Mu ngeri endala endwadde ezikwata ensigo wamu n’ezo ezeekuusa ku mutima zikosa omwana owookubiri ekikosa entambula y’omusaayi okutuuka ku mwana era ekiseera kituuka n’afa.
Omusaayi gw’omwana ne maama obutakwatagana

“Abaddugavu abasinga tuzaalibwa n’ekirungo ky’omusaayi ekiyitibwa (phesus positive). Mu mbeera eno, singa omwana atondebwa nga talina kirungo kino,omusaayi gwa maama we gugezaako nnyo okulwanyisa ogw’omwana n’atasobola kukula bwatyo n’avaamu”, Kaggwa bw’annyonnyola.

Wabula awa abakazi abafunye embuto amagezi bulijjo okwanguwa okulaba abasawo okusobola okuwona embeera ey’ekika kino.

Ebintu 5 ebiggyamu embuto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...