TOP

Ebiremesa omukazi okuzza ku mwana

Added 1st October 2013

OKUZAALA omwana omu abasinga bamugeraageranya ku kati ka kibiriiti, era bakiraba ng’ekisiraani. Wabula mu bulamu obwa bulijjo waliwo abakazi abeesanga nga mu bulamu bwabwe bwonna bazadde omwana omu yekka.OKUZAALA omwana omu abasinga bamugeraageranya ku kati ka kibiriiti, era bakiraba ng’ekisiraani.

Wabula mu bulamu obwa bulijjo waliwo abakazi abeesanga nga mu bulamu bwabwe bwonna bazadde omwana omu yekka.

Bangi ku bakazi ab’ekika kino tebakikola mu kweyagalira wabula balemwa bulemwa okuzza kw’oyo gwe baba balina olw’ensonga ezitali aimu.

Kiki ekivaako  embeera eno?

Dr. Andrew Kaggwa akolera mu ddwaaliro e Mulago agamba nti embeera ey’ekika kino eyitibwa ‘secondary infertility’.  Annyonnyola nti kino kitegeeza nti omukazi si mugumba wabula waliwo embeera endala emulumba oluvannyuma lw’okuzaala omwana asooka n’emutuusa okulemwa okumuzzaako. Mu bino mulimu.

Ebizimba mu nnabaana.
Singa omukazi afuna ebizimba oluvannyuma lw’okuzaala, ayinza obutaddamu kufuna lubuto. Kino kiva mu nsonga nti mu kifo ky’eggi we lyekwata okutonda omwana, wabeerawo ekizimba ekiriremesa omwana okutuulawo.

Endwadde z’ekikaba.
Omukazi okulumbibwa endwadde z’obukaba omuli kabootongo, enziku n’ezo ezikwata mu bukyala (PID) zizaala amasira agavaako enseke okuzibikira. Omukazi bw’atuuka mu mbeera eno aba tasobola kuddamu kufuna lubuto lwa nsonga nti ekkubo ly’enkwaso z’omusajja liba lizibikidde.

Omukazi okulwawo okuzaala.
Waliwo abakazi abatandika okuzaala nga basembeeredde ekiseera kyabwe eky’okukoma okulwala mu mbeera z’ekikyala (monopause).

Abakazi abasinga bakoma okulwala wakati w’emyaka 40 ne 50. Kino kitegeeza nti singa atandika okuzaala ng’asemberedde ekiseera kino, emikisa gye egy’okuzaala omwana omu giba mingi.

Abafumbo nga tebasisinkana mirundi gimala mu bikolwa eby’obufumbo.
Abafumbo beetaaga okusisinkana mu bikolwa eby’obufumbo emirundi egitakka wansi w’ena mu wiiki okusobola okufuna omwana. Kino kiri bwe kiti kubanga omukazi aba n’ennaku musanvu zokka mu mwezi mw’afunira olubuto. Kino kitegeeza nti singa tafuna musajja mu nnaku zino, taba na mukisa gwonna gufuna lubuto.

Obusimu bw’omukyala okutaataagana. Waliwo enkola z’ekizaalaggumba ezireetawo okutaataagana mu nkola y’obusimu obuvunaanyizibwa mu kutonda omwana (hormonal imbalance).

Embeera eno ereetera ensawo y’amagi okulemererwa okutuukiriza omulimu gwayo ogw’okufulumya eggi buli mwezi.

Mu mbeera eno, omukazi ayinza okugenda mu nsonga buli mwezi kyokka nga tafulumizza ggi. Embeera eno yeevaako n’ omukazi okubuuka wamu n’okudding’ana omwezi.

Ekizibu ku nkwaso z’abasajja.
Waliwo abasajja abafuna ekizibu ku nkwaso zaabwe ebiseera ebisinga ekiva ku bulwadde obuzikosa ne buzoonoona.

Mu mbeera eno, omukazi alina omusajja ow’ekika kino ne bw’aba yazaalako taba na mukisa gwa kuddamu kuzaala. Kuno kw’ogatta abasajja abalina enkwaso entono eziba n’emikisa emitono okusisinkana eggi ly’omukazi okukola omwana”, bwatyo Kaggwa bw’annyonnyola.

Omukazi ali mu mbeera eno alina kukola ki okutereera?
Kaggwa agamba nti singa omukazi ow’ekika kino atuukirira abasawo mu bwangu, basobola okumuyamba n’asobola okuzza ku mwana mu budde obutuufu.

Waliwo obubonero omukazi alina ekizibu kino kw’ayinza okulabira omuli;

Okulemwa okufuna olubuto oluvannyuma lw’okugezaako okumala ebbanga eriri wakati w’emyezi mukaaga n’omwaka, naddala ng’osussizza emyaka 35.

Okudding’ana mu nsonga n’okukyusa mu bbanga mw’osuulira eggi.  Omukazi bw’aba asussa emyaka 35 omutindo gw’amagi ge gutandika okwonooneka, wabula waliwo eddagala erisobola okumuweebwa omutindo gwo ne gutereera.

Omukazi afunye obuzibu bw’okuvaamu ennyo embuto naye ayinza okulemwa okuddamu okuzaala.
Wabula Dr. Kaggwa agamba nti singa abafumbo bamanya mangu nti balina ekizibu kino ne bagenda mu basawo basobola okubawa eddagala ne baddamu okufuna ezzadde.

 

 

 

Ebiremesa omukazi okuzza ku mwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...