TOP

Isma nkusaba onywerere ku nze

Added 4th October 2013

ERIMU ku kkubo mwe tuyinza okuyita okukulaakulana n’okutuuka ku birungi lye lya munnange okunywerera ku nze nzekka.



ERIMU ku kkubo mwe tuyinza okuyita okukulaakulana n’okutuuka ku birungi  lye lya munnange okunywerera ku nze nzekka.

Nze Hasfah Nalumagga mbeera Bulaga mu Wakiso. Isma ye musajja gwe nnakkiriza okufuuka taata w’abaana bange.

Twasisinkana mu 2007 era ne tukkiriziganya okufumbiriganwa mu 2008.

Yeeyanjula mu bakadde bange e Masaka n’oluvannyuma n’ampoowa. Okuva olwo tuli mu mukwano omuzito mwe tuzaalidde n’abaana babiri.

Munnange mmwebaza nti okuva olwo abaddewo nnyo ku lwange era eno y’ensonga lwaki nfunye essanyu wamu n’emirembe ebitayogerekera, mu bufumbo wange.

Ankoledde saluuni ensonga ennyongedde essuubi mu biseera by’obufumbo bwaffe eby’omu maaso.

Okuva lwe nfunye omulimu oguyingiza ku ssente, nneeyama okumukwasizaako mu nsonga zonna ezikulaakulanya amaka gaffe.

Nkusuubiza nti ndi mabega wo mu nsonga zonna.

Ensonga y’okuzimba bw’eneetuuka, ndi mwetegefu okukola kyonna ekisoboka okulaba nga nange mbaako ettofaali lye nteeka ku nsonga eno.

Ne bwe kiba kyetaagisa kwerekereza mu ngeri yonna, ndi mwetegefu okukikola. Mu kiseera kino kye nsaba Isma, kwe kwerekereza amasanyu agatali gamu omuli n’okwetegula endowooza ku ky’okuwasa abakazi abalala.

Singa kino anaakiteeka mu nkola, nkakasa nti kijja kutusobozesa okwongera okukulaakulana n’okutegekera abaana baffe be tuzadde ne be tusuubira okuzaala.

Isma nkusaba onywerere ku nze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...