TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obuntu obutono obuwangaaza omukwano mu nnaku enkulu

Obuntu obutono obuwangaaza omukwano mu nnaku enkulu

Added 10th December 2013

OMUKWANO okutotojjera obulungi olina okugufaako ennyo. Waliwo obuntu obulabika nga butono ddala obuyamba omukwano ne gutebenkera.OMUKWANO okutotojjera obulungi olina okugufaako ennyo. Waliwo obuntu obulabika nga butono ddala obuyamba omukwano ne gutebenkera.

1 Mwekwate mu ngalo nga musala oluguudo oba nga mutambula mu kkubo nga muyita mu bantu. Mwekwate mu biwato n’omwagalwa wo nga muyimiridde mweriraane, temulekaawo bbanga ddene mu makkati gwammwe okuggyako nga tekyewalika.

2 Wandiika obugambo obutono obw’omukwano ku kapapula obuteeke mu nsawo y’omwagalwa wo wadde nga kagambo nga “nkwagala nnyo”. Obugambo buno tebulina kunnyonnyola nnyo.

Oyinza okuteeka lipusitiiki ku kapapula era kajja kuleeta akamwenyumwenyu ku matama g’omwagalwawo.

3 Teeka obubaka bw’omukwano mu ssimu y’omwagalwa wo bw’anaagikeberako ng’obubaka bweraga.

4 Weewuunyise omwagalwa wo ng’omutwalako awutu mu kafo ak’okumpi mu budde bw’ekiro ng’ayambadde nayiti yokka. Yaliirira wansi bulangiti kw’aba atambulira oba tegekayo ka wiikendi omutwale awutu nga tategedde mu kafo akali okumpi.

5 Tuula ku bisambi bye weeyise ng’omwana omuto mwenna nga temulina kibeeraliikiriza nga muli waka wammwe. Oba oyinza okumusitulako omwetoolooze mu nju nga tofuddeeyo wa w’ayagala okulaga oba mu kisenge, oba mu ddiiro.

6 Yamba ku mwagalwawo okutegeka ekyeggulo oyoze ne ku bintu. Beera muyiiya oyiiyeeyo ekintu ekipya ky’oyinza okukola ng’ofumba, oba obutayambala kantu konna okuggyako epulooni yokka.

7 Teeka amazzi agabuguma mu kinaabiro omwagalwa wo bw’akomawo okuva ku lugendo oba ku mulimu, muyingire mwembi omukuuteko mu mugongo n’okumu masaagingako.

Weeyise mu ngeri ey’ekiralu bwe muba mulina obudde munyumizeeyo akaboozi akacamula.

8 Tunuulira omwagalwawo mu maaso omugambe “nkwagala nnyo”. Kyogere ng’okitegeeza nga tolabika ng’asaaga oba azannya obuzannyi.

9 Mala obudde n’omwagalwawo nga munyumirwa bye musinga okwagala. Bw’aba alaba mupiira wadde nga ggwe togwagala fuba okubeera naye anyumirwe nga naawe w’oli.

10 Bwe muba mugenzeeko awutu, oyinza okumuweereza akayimba oba n’omuyimbira ng’oli ku siteegi ya kariyoki.

Wabula ekyo bwe kiba kikukwasa ensonyi kamuyimbire ku ssimu. Oyinza okumukubira essimu n’okamuyimbira oba essimu n’ogiteeka ku leediyo akawulire. Kino kijja kumusanyusa.

11 Tegeka amazina ag’enjawulo g’onoomuziniramu ku lunaku olw’enjawulo nga Kulisimaasi naddala nga muli ne mikwano gyammwe.

12 Mukube akaama mu kutu kwe akalimu obugambo obumuwaana era obumulaga nti omwagala nnyo.

13 Funa engeri yonna eyinza okuleeta akamwenyumwenyu ku matama ga muno. Mukwate emikono gye ogiyise ku matama go oba ku bisambi byo. Kino kijja kimusanyusa.

14 Bw’oba okomawo awaka, muleetereyo ekyokulya ky’asinga okwagala, okimuwe naddala mu budde bw’ekiro. Oyinza okukireka mu mmotoka olwo bwe mutuusa okwebaka n’okinona mu mmotoka n’okimutonera.

15 Omwagala wo bw’aba tawoomerwa mmere gyalya mu wooteri mukyusizeemu omuweemu eyiyo gy’osinga okwagala.

16 Weesonseke obuliri ng’oli bwereere, kino kijja kumwewuunyisa kuba ajja kuba takyetegekedde. Oyinza okwesiba ‘kariboni’ mu kiwato oba mu kifo ekirala kyonna nga weewaddeyo ng’ekirabo kye ekiro ekyo.

17 Weekubise ebifaananyi ng’oyambadde engoye z’omwagalwa wo, obimulageko, kijja kwongera okumucamula.

Obuntu obutono obuwangaaza omukwano mu nnaku enkulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...