TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri y'okwewala endwadde z'ekikaba mu sizoni eno

Engeri y'okwewala endwadde z'ekikaba mu sizoni eno

Added 17th December 2013

Abantu gye bakoma okusanyuka nga bajaguza Amazaalibwa ga Mukama waffe, bangi gye bakoma okwegadanga mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa ekireetera omuwendo gw’abantu abafuna endwadde z’ekikaba okweyongera mu biseera bino.



Abantu gye bakoma okusanyuka nga bajaguza Amazaalibwa ga Mukama waffe, bangi gye bakoma okwegadanga mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa ekireetera omuwendo gw’abantu abafuna endwadde z’ekikaba okweyongera mu biseera bino.

Dr. Ivan Mukasa owa St. Jude Medical Centre ku Zai Plaza agamba nti ezimu ku ndwadde z’ekikaba ezisinga okusaasaanyizibwa mu biseera by’Amazaalibwa mulimu; enziku, kabootongo, siriimu, embaluka, kandida, hepatitis B, C n’endala.

Endwadde zino omuntu asobola okuzifuna singa yeegatta n’omuntu abulina awatali kukozesa kapiira kuba butambulira mu;
1 Amalusu naddala nga mwenywegera,
2 Entuuyo z’omubiri kuba mu nsiitaano y’omukwano, omubiri gutuuyana,
3 Amazzi g’ekyama nga temukozesezza kapiira,
4 Omusaayi nga munno alina ekiwundu ku kitundu ky’omubiri gwe kyonna naddala mu bitundu by’ekyama, mu ngalo n’awalala.

Mmanya ntya nti nfunye obulwadde bw’ekikaba?
Obubonero bw’endwadde z’ekikaba:
1 Obulumi mu kabuto ka wansi.
2 Okusiiyibwa mu bitundu by’ekyama.
3 Okubundula amazzi agalinga amata agafudde agalimu ekisu oba amasira.
4 Okulumwa omugongo n’okufuna olusujjasujja.
5.Okulumizibwa nga muli mu kisaawe.
6 Okubabuukirirwa mu bitundu by’ekyama naddala ng’ofuuyisa.

Okubwewala:

  • Ekisooka mu byonna tulina okumanyisa abantu ku bulabe obuli mu bulwadde buno n’okubakubiriza okwejjanjabisa. Kino kibayamba okubwerinda.
  • Olina okukuuma obuyonjo kubanga obuwuka obumu bwettanira nnyo ebitundu by’ekyama ebijama naddala kandida. Tositama mu bifo bijama naddala eby’olukale nga mu kaabuyonjo n’ebinaabiro.
  • Okwejjanjabisa amangu. Singa ofuna obumu ku bubonero buno, laba mangu omusawo akukebere era akujjanjabe ng’obuwuka tebunnakukolako buvune bwonna.
  • Beera mwesimbu eri omwagalwa wo n’okunywerera ku mwagalwa omu nakyo kiziyiza okusaasaanya n’okufuna endwadde zino.
  • Ate bw’obeera n’omuntu gw’oteesiga, tokkiriza kwegatta naye naddala nga temukozesezza kkondomu. Kino kitegeeza nti kirungi otambule n’obupiira bwo mu nsawo okwewala ebigwa bitalaze.
  • Weewale ebifo ebyekusifu nga mwakeeraba kuba bibateeka mu bikemo ekiyinza okukulemesa okwerwanako nga gw’oli naye akwefuulidde.
  • Munyiikire okwekebeza kibasobozese okumanya obulamu bwammwe bwe buyimiridde n’okusobola okwekuuma.

Ye Dr. Stephen Watiti okuva mu kitongole ekibudaabuda n’okujjanjaba abavubuka abalina akawuka ka sirimu ekya Link Up agamba nti nga tonneegatta olina okuba n’ensonga lwaki olina okunyumya akaboozi omuli okwesanyusa n’okuzaala ku baana.

Buli lw’onyumya akaboozi n’ekigendererwa ky’okwesanyusaamu, olina okwekuuma ng’okozesa akapiira ate ng’ogoberera ebiragiro by’enkozesa yaako bulungi.

Akubiriza abantu okwettanira obupiira obukuuma obulamu, munno bw’agaana mugambe nti, “bwe kaba tekaliiko, ssi kyabuvunaanyizibwa, teri kazannyo”, ate okiremereko obutakuggya ku mulamwa.

Dr. Watiti annyonnyola nti kkondomu ziringa ngatto, omulundi ogusooka okuzambala oyinza obutatambula bulungi naye bw’ogenda ozimanyira buli kimu kitereera ate tewejjusa kuba kati abantu bangi okuva lwe bayiga okuzitambuza tebaddangamu kutambuza bigere.

Kino kye kinaabasobozesa okuyita mu ggandaalo nga muli balamu bulungi era mbaagaliza Kulisimaasi ennungi n’omwaka omuggya.

Engeri y’okwewala endwadde z’ekikaba mu sizoni eno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...