TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Akamasu kenteze baze ka kunkuba mbaga

Akamasu kenteze baze ka kunkuba mbaga

Added 23rd December 2013

NSAZEEWO okukozesa eggandaalo lya Ssekukkulu eno okujjukiza omwagalwa wange okuteeka mu nkola ensonga z’amaze ebbanga ng’ansuubiza.

NSAZEEWO okukozesa eggandaalo lya Ssekukkulu eno okujjukiza omwagalwa wange okuteeka mu nkola ensonga z’amaze ebbanga ng’ansuubiza.

Nze Josephine Nagaddya, mbeera Nakulabye. Ensonga z’obufumbo bwange ne Crawford zitambudde bulungi okumala emyaka 16. Tutuuse ku nsonga nnyingi omuli n’okukulaakulana mu maka gaffe.

Omulimu gw’okufumba ngutegeera bulungi kuba mmaze ebbanga nga gwe nkola ng’omulimu omuva ssente. Kino kinnyambye nnyo olw’okumpa omukisa okufumbira taata w’abaana ebintu ebituufu.

Embeera eno okutwaliza awamu erina kinene ky’eyongedde ku mukwano gwaffe.

Ku nsonga za Ssekukkulu, mmaze ebbanga nga nfuba okulaba nga nteekerateekera munnange ebimusanyusa.

Olunaku lwonna nduwaayo okuleetawo enjawulo mu maka gaffe naddala ku nsonga ezeekuusa ku kufumba. 

Ku lunaku luno nneewala nnyo okusiika era ntera kufumba mmere eng’anda munnange gy’ayagala. Olwo ngatteko n'akatunda akakamule akajjudde ebibala olwo Kulisimaasi etunyumire. 

Bulijjo mu mbeera eno olunaku lwa Kulisimaasi lugenda okuggwaako ng’akalimi k’omukwano gwaffe kalinnye. 

Kulisimaasi y'omulundi guno, njagala ebe ya njawulo okuva ku zizze zibaawo. Eno ngiteeseteese mu ngeri nti nsuubira okukuyega munnange atuukirize ensonga y’okweyanjula ewaffe e Luweero wamu n’okunkuba embaga waakiri omwaka ogujja.

Ebbanga lye mmaze nga nfumba, sinnatuuka ku kitiibwa kino kye njagala ennyo. 

Eno y’ensonga lwaki njagala okukozesa Ssekukkulu y’omulundi guno okutuuka ku bigendererwa nga bino ebinsuza nga nkukunadde. Akakodyo ke ng’enda okukozesa mu nsonga eno, kwe kuteeka ssente mu nsonga zonna eza Ssekukkulu.

Ku mulundi guno, saagala munnange abeeko ssente ye gy’ateekamu kuba mbusondedde ebbanga. Nsuubira n'okumugulirako essaati n'ettaayi era mmutwaleko awutu.

Nkakasa nti embeera eno ejja kumuteeka mu mmuudu. Si musajja mukalubo era mmanyi nti byonna bijja kutambula bulungi.

Akamasu kenteze baze ka kunkuba mbaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...