TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Firimu z'obuseegu lwe zitta omukwano

Firimu z'obuseegu lwe zitta omukwano

Added 7th January 2014

ENSANGI zino, ku migogo gy’abaagalana 100, 20 ku bbo tebakyegatta mirundi giwera bw’ogeraageranya bwe gwali emyaka 10 egiyise.




ENSANGI zino, ku migogo gy’abaagalana 100, 20 ku bbo tebakyegatta mirundi giwera bw’ogeraageranya bwe gwali emyaka 10 egiyise.

Ku mulembe guno, abantu bettanira nnyo obutambi obw’obuseegu ekirese amaka nga gayuuga. Obutambi bwa bulabe nnyo mu maka kubanga buyigiriza emize awatali kutaliza bato na bakulu.

Gye buvuddeko, abakugu baakoze okunoonyereza ku ngeri abantu gye beeyisaamu mu mukwano. Okunoonyereza kwakoleddwa ku baagalana abasoba mu 15,000 era ne kizuulibwa nga ku bbo, ebitundu 20 ku 100 emirundi gye beegatta mu mwezi bagibalira ku ngalo bw’ogeraageranya bwe gwali emyaka 10 egiyise.

Ate bbo abakenkufu okuva mu University of Sydney baazudde nti abasajja ebitundu 85 ku 100 abalaba firimu oba ebifaananyi eby’obuseegu, tebakyakola bulungi mirimu gya mu kisenge.

Ku bbo, ebitundu 47 ku 100 abalaba obutambi n’ebifaananyi bino obwongo bwabwe bukosebwa ne balemererwa n’okukola obulungi emirimu emirala.

Abakugu bagamba obutambi buno bwa bulabe n’eri abakazi kuba nabo bayinza obutalaba makulu gali mu kwegatta na musajja ng’oli asobola okwemalako ekyoyooyo bw’alaba ebintu bino.

ENGERI GYE BUKOSA AMAKA;
Muky.Grace Namande omukugu mu kubudaabuda abaana n’abafumbo mu Community Effort e Bbira agamba nti bw’olaba ebifaananyi bino, w’otuukira okwegatta obwagazi buba bukuweddemu ng’owulira mukkuto gwennyini ekiyisa obubi munno kuba ye abeera acaajinze.

Bw’obyemanyiiza, ekikolwa ky’okwegatta mu mukwano gwammwe kiggwaamu amakulu kubanga ebiseera ebisinga okikola kutuusa mukolo.

Mubaamu ebintu bingi ebitta omukwano ate bw’obiraba, oyagala munno naye by’aba akukola.

Ssinga bimulema oba nga ye tabyagala, kikuleetera okulowooza nti tamanyi mukwano ekiyinza okubaleetera okwawukana.

Ebikolwa ebimu mu butambi buno bya buseegu era nga bikontana n’enzikiriza oba obuwangwa bwaffe.

Ssinga okaka munno okubikola, kiyinza okubaleetera okwawukana kubanga tebiweesa Mukama kitiibwa.

Zireeta obwenzi; Singa munno agaana okukola by’oyagala naddala sitayiro ze wakoppye mu firimu, kikuwaliriza okunoonyayo anaabikukolera ekivaako omukwano gwammwe okusasika.

Endwadde; Dr. Prossy Bulega omusawo w’abakyala mu Royal Domicilliary Clinic e Seguku agamba nti okukopperera ebintu ebiri mu firimu zino kyongera okusaasaanya endwadde mu bantu ababyettanira.

Endwadde zino bw’oba tozifunidde mu kwegatta, ziyinza okuyita mu kamwa naddala nga wettanira nnyo okukomba ebbakuli. Oyinza okufuna kandika w’omu kamwa n’endwadde endala eziva ku bujama kubanga abantu abamu tebamanyi kweyonja n’okwoza obuwale bwabwe.

Ate abantu tebeekebeza ndwadde ate tebejjanjabisa bulungi ndwadde ziba zibarumbye naddala ez’obukaba. Ssinga omala gagwa ebbakuli, kibeerera kyangu obuwuka okuyingira omubiri gwo nga buyita mu kamwa ekikuleetera okufuna endwadde z’oteetegekedde.

Dr. Ivan Mukasa owa St. Jude Medical Centre ku Zai Plaza agamba nti obutambi buno bw’obwemanyiiza bukuluusanya obwongo bw’omuntu naddala nga mulimu ebifaananyi by’abantu abatulugunyizibwa.

Zireetera abantu obutamatira; Bw’oba olaba ebifaananyi bino, obusimu bw’omubiri obuleeta obwagazi buddukira ku sipiidi ya waggulu okutuuka ku bwongo ekireetera obwongo okukyuka embagirawo okudda ku ky’oliko eddakiika eyo.

Gy’okoma okubiraba, obwongo bwo bukosebwa mu ngeri za mirundi ebiri era ng’oyinza okufuuka omusibe ku byo.

Oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu ng’olaba firimu oba ebifaananyi by’obuseegu, oyinza okubulwa obwagazi.

Okaluubirizibwa okutuuka ku ntikko; Okumanya obutambi buno bwa bulabe, mu malwaliro n’ebifo gye bagabira eddagala abantu beeyiwayo bangi nga banoonya amaanyi g’omu kisenge ate ng’abasinga ku bbo bavubuka abakyalira embavu.

Abamu babeera tebalina bwagazi, bakaluubirizibwa okumatiza bannaabwe, tebakyatuukako mu bwengula, saluti bwe bagikuba ekoma mu kkubo oba nga tebakyagikubirako ddala.

Oluvannyuma otandika okulaba ng’omwagalwa wo takyakusikiriza era nga ne bwe mutuuka mu kisenge, ne mwetala okumalayo ensonda z’ekisenge, tokyukako okutuusa lw’akukongokako.

Embeera eno bw’egenda mu maaso, munno akwetamwa ekibaleetera okwawukana.

Omukazi bw’akimanya nti obufaananyi buno obulaba, kikuluusanya obwongo bwe kuba yava ewaabwe kufumba. Emirimu egimu bw’ogimuggyako nga kye gyamuleeta, kimuyisa bubi nnyo ekimubuza obwagazi mu kiseera w’omwagalira.

Oyinza okufuuka ow’obulabe eri munno; Kubanga bw’obiraba mu firimu nga babizannya oyinza okulowooza nti munno okutulugunyizibwa nga bali mu kisaawe abeera anyumirwa n’oyagala okigereze ku ye.  Bw’ozuula obutambi buno mu kisenge kyammwe, buggyeemu mangu otaase laavu mu 2014.

 

Firimu z’obuseegu lwe zitta omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...