TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Laavu y'ekiddugavu n'enzungu eriwa esinga?

Laavu y'ekiddugavu n'enzungu eriwa esinga?

Added 4th February 2014

Ky’olina okumanya nti omukwano okufaanana n’ekintu ekirala gulina kwe gusinziira. N’engeri gye weeyisaamu mu mukwano kiva ku mbeera nnyingi.



WIIKI ewedde twatunuulidde ebyama 25 buli muntu ali mu mukwano oba mu bufumbo by’ateekeddwa okumamya okusobola okunyumirwa omukwano.

Mpozzi ekimu ku bintu ebyabuusiddwa amaaso y’engeri abaagalana gye bakwatamu ensonga z’omukwano. Abantu bangi abanyumirwa omukwano mu ngeri y’ekiddugavu. Oyinza okugiyita laavu Eng’anda, Endaalo, Engisu, Ensoga, Ennyolo oba eggwanga lyo.

Ky’olina okumanya nti omukwano okufaanana n’ekintu ekirala gulina kwe gusinziira. N’engeri gye weeyisaamu mu mukwano kiva ku mbeera nnyingi.

Okusookera ddala weebuuze omukwano tuguyigira wa era tuguyiga tutya? Abantu abasinga omukwano baguyiga kuva ku bazadde baabwe. Bazadde bo singa tebakulaga mukwano ng’okyali muto, kizibu okubeera nagwo.

N’ekirala, bw’okula nga bazadde bo balaga omukwano era ebiseera ebisinga naawe olaga omukwano. Naye jjukira nti abantu abasinga kizibu okulaba abazadde nga beegatta era teri muzadde ayigiriza mwana kwegatta.

Olwo weebuuze nti tuyiga tutya okwegatta ate nga abasinga twegattira mu nnimi oba obuwangwa oba mu ngeri ya kiddugavu.

Ky’olina okumanya nti okwegatta kya butonde. Kiringa omwana okuzaalibwa n’ayonka nga teri amugabye. Kino kiyitibwa instinct mu Lungereza.

Kale eky’okuyigiriza omuntu okwegatta mbu kubanga mbeerera tekyetaagisa kuba alina okwegatta oba bamuyigirizza oba nedda.

Abaagalana Micheal Sentongo ne mukazi we Winnie Ndigejja abatuuze b’e Kansanga bagamba nti ekisinga okubasanyusa buli omu kufissizaawo munne akadde n’amulaga omukwano. Obufumbo bwabwe baakabumalamu emyaka etaano era butambula bulungi.

Naye engeri gye twegattamu kiva ku bye tulaba bye tuwulira ne bye tusuubira okubeerawo.

Mu Buganda tukimanyi nti omukwano okutambula obulungi wabeerawo okuyimba, tukimanyi nti bw’onoonya abalongo omukyala afuna essanyu naddala ng’alina obwagazi.

Kati Abaganda kubanga bino babimanyi babikola okutuukiriza okwegatta mu Buganda. Ate era tukimanyi nti omukyala alina okubeera n’enkumbi era omulimu gw’ekumbi buyonjo na kunoonya musajja.

Abaganda bino babyogerako ate babikola. Eyo ye laavu eng’anda.

Ate ffena tukimanyi nti mu Ankole balina ak’Embarara, nga kano okukatuukiriza, oteekeddwa okubeera n’akatebe mu kisenge akakola omulimu guno era eby’enkumbi tebabitwala nga kikulu kubanga mu buwangwa bwabwe tebakolera.

LWAKI ABANTU BAVUDDEKU LAAVU ENO?
Abantu abamu batandise okuva ku laavu eno ey’ekiddugavu era ekireese kino amawanga kati gawasang’ana.

Ekirala ‘olusomi’ lungi nnyo mu mukwano ennaku zino. Abaagalana abasinga omukwano bagusinda mu Luzungu.

Namwanja ng’annyonnyola laavu y’ekiddugavu.

Kino abakikola baba ng’abalaga nti ebintu bwe mubikola mu ngeri y’ekiddugavu muba ng’abataasoma.

Ekizibu kiri nti buli lwe musinda omukwano mu Luzungu, kizibuwala buli omu okutegeeza
ekimuli ku mutima.

‘Omukwano gw’ekiddugavu gunyuma olw’ebisoko ebigulimu’

 Nate e mulina okumanya nti buli lw’okozesa olulimi mwembi lwe mutegeera obulungi amakulu gavaayo bulungi ate kijja kwongera okubasumulula, naddala singa muba mwembi mumanyi ebigambo ebituufu eby’okukozsesa mu kiseera ekituufu.

Sigaanyi omuntu wa ddembe okuyiga naddala ebyomugaso, naye ekintu kyonna kyagala ‘oligino’. Watya nga munno omugabye nti “nkwagala nnyo” okusinga okwesiba ku kya ‘I love you’, bulijjo ky’okozesa, ate nga n’abakimugamba bangi?

Sarah Namwanja omutuuze w’e Kasubi agamba nti abaddugavu Katonda yabaweesa ebiri mu nsonga z’ekisenge.

“Omukazi omuddugavu alina empisa z’omu kisenge. Aba mukkakkamu era ensonga zonna azikwata mpola. Ayaniriza munne mu ddoboozi ery’eggono nti, “taata nsanyuse okukulaba.Ndaba kw’ani amata agatafa..!”

Ate mu ngeri y’emu oluvannyuma lw’emikolo kisukka.Alonda obugambo obukulisaayo n’okwebaza munne nga buwoomu era obumuzzaamu amaanyi olwo n’addamu okulinnya olusozi mu bwangu.

“Ssebo kulika olugendo, ye nkuwe ki okukuwonya obukoowu...? Kuno kw’agatta okwebuga ng’akozesa enkumbi y’ekisenge n’otuzzi otubuguma okulongoosa munne okumuvumula obukoowu wamu n’okumuggyako olutuuyotuuyo. Ggiraasi y’amazzi oba akatunda tebibula mu kisenge.

Ate bwe kituuka mu kukoloobya ennyimba mwe bagabira ebyalo n’amasaza agatabaggwaako otuuka okulowooza nti nnyonza y’eyimba.

Omukazi omuddugavu yayigirizibwa ekiyitibwa okusuusuuta omusajja era ne bw’aba talina kya maanyi ky’akoze era afuba okumuzzamu amaanyi. Kino era kikolera nnyo abasajja kuba buli lw’amusuuta nga naye yeegaganula okukkakkana nga bombi banyumiddwa.

Abakazi abaddugavu bayiiya ba bbaluwa mu nsonga z’ekisenge”, bw’atyo Namwanja bw’annyonnyola.
Nti ate bwe kituuka ku ngeri gye beewundamu, omulala tasembera.

Omukazi omuddugavu amanyi okwewunda n’akirako ettaala mu kisenge. Obutiiti kyambalo kya njawulo nnyo ekyambalwa abaddugavu bokka.

Ate bwe kituuka ku musajja amanyi obulungi omugaso gwabwo, zidda okunywa. Obutiiti buno buyamba okuteeka abaagalana mu mmuudu ensonga ne zigenda bukwakku.

Omusajja bw’abukwatamu bulina engeri gye bwongera okubanyonyoogeera ekibayamba okwongera okunyimiza omukwano.

Laavu y’Ekizungu yasukka obuka!
AISHA Nanteza ow’e Makerere agamba nti omukwano omuddugavu tomunyumiza. Agamba nti omukwano Omuzungu tolina ky’oyinza kugugeraageranya nagwo.

‘Laavu Enzungu tebaamu kwekomomma era buli kimu abaagalana bakikola mu bwerufu, ate tebaamu kwenyinyala na kwekwasa nga bwe kiri ku baddugavu. Oli bw’aba ayagadde munne ebisigadde tomunyumiza.

Balina laavu eviira ddala wansi w’entobo y’omitima gwe y’ensonga lwaki bagaba laavu eteriiko bukwakkulizo.

Nanteza

Tebeefaako bokka nga bw’olaba Abaddugavu. Omukwano mugugaba kyenkanyi era n’essanyu ly’ekisenge mulifuna kye kimu.

Omuddugavu olwesogga ekisenge ayagala kutandikirawo kulambula nnimiro.

Ku Muzungu ayinza n’okutwala essaawa ng’anoonya munne okutuusa lw’amala okukakasa nti ddala ayidde.

Olulimi kya kulwanyisa kya maanyi mu nsonga z’ekisenge. Luno aluyisa mu buli kifo kyonna awali obusimu.

Okukomba ebbakuli baakusoma ne baakukuguka. Okugivaako amala kukakasa nti ddala mwembi mugabanye ku ssanyu.

Ate mwanawattu eky’okwegatta si nsonga nnyo gye bali. Ayinza okutuuka ku bino byonna naye ng’eby’okwegatta tabituusseko.Bo abaddugavu okwegatta kwe bayita omukwano omujjuvu.

Bw’aba tannaloza ku ssukaali ono tabala nti omwagala”, bwatyo Nanteza bw’atenda laavu y’Omuzungu.

Abazungu balaga laavu ssupa - Cindy

Cindy Sanyu ne muganzi we Mario Brunette bamaze ebbanga nga baagalana era balina omwana omu. Omukwano gw’ Omuzungu Cindy agutenda obuka.

“Okwawukanako n’Abaddugavu abatwala ensonga y’obuwangwa nga nkulu nnyo era ne bagigobeera, Abazungu bino tobanyumiza. Buli wamu ne bwe muba mu bantu oba mu maaso ga bazadde nawo asobola okulagirawo omukwano.”

Kino ndowooza kiva mu ngeri gye bakuzibwamu. Ffe wabo abazadde batukuza nga batulaaga nti okunyumya akaboozi  ‘bya busiru’ era osanga omusajja oba omukazi omufumbo naye  nga talina ky’amanyi ku bya mukwano, naye bbo Abazungu  babakuliza mu mbeera nga babalaga nti omukwano kya buntu wabula ne babakubiriza obutagwenyigiramu nga bakyali bato,” bw’annyonnyola.

Cindy agamba nti Abazungu bafaayo nnyo era kino bakiragira mu bintu bingi  omuli n’okwagala okubeera w’oli buli kadde, bwe muba mutambula ayagala akukwate ku mukono. Ssente kye kimu ku bintu ebinyweza laavu era mu kino Abazungu baayitawo.

Okwawuukanako n’abasajja abaddugavu bamukono ggaamu, Abazungu balambulukufu ku nsonga ya ssente. Bw’aba azirina azikuwa nga bwe weetaaga.

“Wabula obuzibu bwe balina nti tebawa bantu kitiibwa. Omuzungu ne bw’oba nga gwe nnyazalawe asobola okukuvuma ng’okoze ekikyamu,” Cindy bw’annyonnyola.

ABAZUNGU BAMANYI OKUSSA EBIRUNGO MU LAAVU
GNL Zamba ono abaddeko mu mukwano n’abakazi ab’enjawulo okuli Omuzungu gw’alina kati n’abaddugavu.

Agamba nti wadde laavu y’Abazungu teyawukana nnyo n’Abaddugavu naye nti bamanyi okugiteekamu ebirungo ebigifuula enka okusinga ey’Abaddugavu.

“Omukazi omuddugavu laavu bw’aba agirunga na bunzaali ye Omuzungu ateekamu kaamulali olwo n’efuuka nka.

Abazungu mu nsonga z’omukwano tebekwatakwata ng’abawala abamu be ndaba Abaddugavu.

Abazungu kumpi buli kiseera baba mu mbeera ya mukwano ne bw’aba akunyiizizza akwerabiza oba obutakifaako anti buli kiseera abeera mu kukunywegera kukugwa mu kifuba, ayagala kumulera oba kukulera n’ebirala.

Ate bwe mutuuka mu kisenge oyinza okulowooza balina amasomero ag’enjawulo gye babatendekera, anti akutambuza mu buli nsonda naawe n’omatira.

Okumanya Abazungu balina laavu bw’ofuna obuzibu okugeza ekisago ku mukono nga tosobola kukola embeera z’omukazi Omuzungu zikyukirawo era oyinza okulowooza nti naye alwadde.

Bano ng’akamu ku bukoddyo bw’okunyweza laavu baagala nnyo okweteeka mu mbeera gy’olimu okugeza bw’oba mu ssanyu naye ng’asanyuka bw’oba mu nnaku naye ng’anakuwala.

Nneesiimye nti owange gwe nnina tukwatagana mu bintu ebisinga okugeza njagala nnyo ebya myuziki ne firimu era naye by’asinga okwagala.  Njagala nnyo okugenda awutu era naye bwatyo.

Ekirala nti baagala nnyo okuvumbula olwo ne banyumisa omukwano, ekitali nnyo ku bakyala Abaddugavu kuba abasinga beetya,” bw’atyo GNL bw’agamba.

Laavu y’ekiddugavu n’enzungu eriwa esinga?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...