TOP
  • Home
  • Ssenga
  • William nzikiriza nkole tusobole okukulaakulana

William nzikiriza nkole tusobole okukulaakulana

Added 6th February 2014

SIMANYI bwe lulikya nga nange nvaako awaka okugenda okukola nga bannange abalala. Kuno kwe kusaba kwange okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange eri baze.



SIMANYI bwe lulikya nga nange nvaako awaka okugenda okukola nga bannange abalala. Kuno kwe kusaba kwange okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange eri baze.

Njagala nnyo okukola kuba mmanyi nti ly’ekkubo lyokka erijja okutuyamba okutuuka ku birungi tuwone okwegomba.

Nze Faridah Nalugo, mbeera Kyengera. Nneebaza baze William olw’okunkuuma okumala ebbanga lino lyonna nga nnyirira.

Mu myaka omunaana gye tumaze naye, ensonga za laavu yaffe zitambudde bulungi y’ensonga lwaki tusobodde okwezimba mu ngeri nnyingi omuli n’okuzimba ennyumba yaffe mwe tubeera n’okuzaala abaana.

William yakyalako mu bazadde bange ne bamulaba era mbeebaza nti baamukkiriza okubeera nange mu nsonga z’obufumbo newankubadde tetwali ba ddiini emu ekintu ekyatuwa amaanyi era okuva olwo ensonga z’obufumbo tuzikutte kannabwala.

Baze yali yansaba okwesonyiwa okukola ng’ayagala kwemalira mu kulabirira amaka n’abaana baffe.
Omulimu ngukoze bulungi era naye n’asiima y’ensonga lwaki yasalawo okumpa omusaala gwa 15,000/- buli mwezi ezikola ku bizibu byange eby’ekikyala.

Mu kiseera kino musaba ebintu ebikulu bibiri era nsuubira nti singa anaabiteeka mu nkola, tujja kwongera okufuna ebirungi bingi n’okunyumirwa amaka gaffe. Ekisooka kwe kulowooza ku ky’okumwanjula mu butongole n’okunzikiriza okukola.

Mu butuufu nkooye okutuula awamu era mpulira njagala mbeeko kye nkola. Bino munnange bw’anaabituukiriza ndi mwetegefu okumwongera ekisanja.

William nzikiriza nkole tusobole okukulaakulana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...