TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By'olina okukola n'obutakola Valentayini okukunyumira

By'olina okukola n'obutakola Valentayini okukunyumira

Added 14th February 2014

LEERO lunaku lw’Abaagalana mwe beeragira essanyu, okwewa ebirabo n’okutwalako bannaabwe ‘awutu’ okubalaga nti babafaako. Valentayini wo talina kuba mukazi oba musajja wabula ayinza okuba muzadde wo, muganda wo oba mukwano gwo.



Bya CHRIS TEBANDEKE

LEERO lunaku lw’Abaagalana mwe beeragira essanyu, okwewa ebirabo n’okutwalako bannaabwe ‘awutu’ okubalaga nti babafaako. Valentayini wo talina kuba mukazi oba musajja wabula ayinza okuba muzadde wo, muganda wo oba mukwano gwo.

Wammanga bye bimu ku by’olina okukola n’obutakola ku Valentayini

  • Bw’oba tolina mwagalwa tosaanye kusigala mu nnyumba nga weekubagiza. Kino kikutaasa obutalowooza ennyo ku baagalana ng’ate ggwe tolina ekiyinza okukuleetera ebizibu n’otuuka ku ssa ly’okulonda ekkubo.
  • Kale kiba kirungi n’obeera awali abantu abangi n’onyumirwa obulamu.
  • Weewale okukubira mukwano gwo gwe wakyawa oba eyakukyawa.
  • Omuntu eyali mukwano gwo oba muganzi ne mwekyawa tomukubira ssimu ng’omusaba appoitimenti ku lunaku luno. Ayinza okukuyiwa n’oluusi okukuvuma n’akumenya omutima ng’ate ebirowoozo byonna obitadde ku ye.
  • Togula kirabo ku ssaawa esembayo
  • Ndowooza olunaku luno terubaguddeko bugwi era bw’oba olina munno gw’ogenda okuwa ekirabo wakimugulidde dda.
  • Bw’onookikola ng’opapirira oyinza okukola ensobi.
  • Atalina valentayini teweekubagiza
  • Bw’oba tolina mwagalwa togezaako kukaka bulamu n’okwekubagiza kubanga oyinza okugwa mu nsobi n’okummalako banno eddembe ng’obakaabira ennaku yo.
  • Weewale okusaasaanya ennyo ssente
  • Olunaku luno tekyandibadde kirungi kusaasaanya ssente nnyingi. Kola bajeti nga ssente z’olina okuteekamu bwe ziba ziweddewo tokwata ku zankalira oba eza bizinensi yo n’efuna ebizibu lwa lunaku lumu.
  • Si kirungi kugulira munno ddole
  • Abamu babyagala naye abalala babitwalanga eby’abaana abato. Biddole byetaaga kugulira baana bato bw’oba okigulidde mukulu munno ng’okimanyi nti akyagala.
  • Munno mutwaleko awutu
  • Bw’oba weetegese bulungi, munno mutwaleko awutu ate mu kifo ekimusanyusa. Oyinza okumwebuuzisa ng’omuwa ebifo eby’enjawulo oba okumutwala gye wamutwalako edda n’asanyuka.
  • Ekirabo kikulu nnyo
  • Okutona ekirabo ku lunaku luno naddala ebimuli bya Roza ebimyufu oba buswiiti n’ebirabo ebirala kikulu nnyo. Kati munno gezaako okumunoonyezaayo ekirabo ekinnaamusanyusa n’okumulaga nti ddala omwagala.
  • Mukole ebibasanyusa byokka
  • Ku lunaku luno mugezeeko okwewala entalo, okunonooza n’okunenya bannaammwe olw’ensobi ze bazze bakola. Mukole ebyo byokka ebizimba laavu yammwe n’okubateeka mu mmuudu y’okunyumira.
  • Abalina mmotoka muyinza okutambulako mu bifo eby’enjawulo nga mulya obulamu n’oluvannyuma ne mugendako ku kijjulo mu wooteeri oba okulya emmere gye mwefumbidde.
  • Temulwa nnyo bweru musobole okufuna obudde obwesanyusaamu.

By’olina okukola n’obutakola Valentayini okukunyumira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...