
Ssenga nnina mukazi wange anjagala naye nnemeddwa okumusanyusa mu kaboozi kuba mutya. Nkole ntya?
Mwana wange lwaki olowooza nti tomusanyusa? Akugamba oba naawe okiraba? Ye okiraba ku ki? Ennaku zino basajja bangi balina obweraliikirivu nga batya nti tebamalaako.
Era endowooza eno eleeta ebizibu bingi mu basajja. Naye okumanya nti omukyala afunye essanyu omanyira ku bwagazi, era nga buno obulaba ng’afunye amazzi mu bukyala.
Ekirala abakyala abamu basobola okumanya nti bamaze naye abasinga tebamanya.
Omukyala musanyuse ntya?