TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yantama lwa kukama nte gy'atawa biwata

Baze yantama lwa kukama nte gy'atawa biwata

Added 17th March 2014

Kyantwalira emyaka ebiri nga netegereza omulenzi wabula nnakoma kwegyo ne sitawaana kweyongera mu maaso na bya bufumbo nga bwe yali ansaba.NZE Agnes Nabirye (mu kifaananyi). Mbeera Kasubi. Tewali kyali kintamizza basajja nga bukodo kubanga kibi nnyo okukama ente gy’otowa biwata kuba ggwe weebuuze amata ganaava wa?

Nnatuuka nga nfuna omwami. Mu butuufu yali mulungi mu ndabika nga kizibu okukwana omukazi n’amugaana era bwe yang’amba ekigambo nti nkwagala mu mutima ne muddamu nti nzikirizza.

Naye namugamba nti okumuwa omutima gwange gwonna kansooke mwetegereze. Omanyi bagamba nti omulungi tabulako kamogo, nga njagala nsooke mmanye akamogo sserulungi ono kaalina.

Okukola kino nnayagala nsooke mmanye obuzibu bw’alina ngende okumuwa omukwano gwange nga mutegeera, si kumala kumukkiriza ate oluvannyuma nzuule emize nga sikyalina kyakukola.

Kyantwalira emyaka ebiri nga mwetegereza wabula nnakoma kwegyo ne sitawaana kweyongera mu maaso na bya bufumbo nga bwe yali ansaba.

Omusajja gye yakoma okuba omulungi nga gy’akoma okuba omukodo kuba mu bbanga eryo lyonna talina ke yampa ke nnyinza okugamba nti ke kano ke nzijukira.

Okumanya omusajja yali mukodo, bwe yayagalanga okundaba ng’ankubira ne ngenda okumusisinkana ne tunywa n’okulya era bino olwaggwa nga ng’ansiibula n’akwata erirye nange ne nkwata eryandeese naye nga tampadde wadde tulansipooti gwe nnakozesezza oba anzizaayo.

Lumu nnamugezesa bwe yajja okundabako n’angamba talina bulungi ssente. Nnalinamu ezange 15,000/- ne nzimuwa, ne muleka.

Waayita ebbanga nga sizimusabye, kye nnakola kwe kumusalira amagezi ne mugamba waliwo obugatto bwe njagala okugula bwa 10,000/- nga njagala annyongereze ku ze nnina mbugule.

Bwe nayogera ku ky’okumpa ssente ye yali entandikwa y’okwawukana kwaffe, anti yanziramu kimu nti “nja bbukugulira” ne twawukana.

Wabula bwe yagenda teyaddamu kukwata ssimu zange nga ne bwe nkyusa nnamba y’essimu bw’akwata nawulira nga ye nze ng’aggyako.

Wano we nnamayira nti obukodo bw’omwami ono bwali bwa butonde era kye nnakola kwali kusangulamu nnamba ya ssimu ye ne mmuta era ne nkimanya nti abasajja abalungi ennyo tebaagalika.

Baze yantama lwa kukama nte gy’atawa biwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...