TOP

Obwenzi bwantamya omusajja

Added 7th April 2014

NZE Sheila Nakitiibwa. Mbeera mu Kinaawa. Kibi nnyo okwagala omusajja n’omuwa omutima gwo naye nga ye ogugwe guli walala nnyo.



NZE Sheila Nakitiibwa. Mbeera mu Kinaawa. Kibi nnyo okwagala omusajja n’omuwa omutima gwo naye nga ye ogugwe guli walala nnyo.

Omusajja gwe nnali nneesumululidde nga ndowooza anjagala nga bwe mwagala yakimmalako bwe namukwata n’abakazi ab’enjawulo emirundi egiwera.

Ggaayi ono yankwana nkyali mu ssomero wabula ye yali tasoma ng’akola.

Yampanga ssente wamu n’ebintu ebirala buli kye namusabanga nga tanjuza, wamma ne nzimbanga ku ssomero anti naawe omanyi bw’obeera ku ssomero ng’olinamu akasente.

Twamala naye omwezi gumu ne mmuta nga ndaba sijja kumalako okusinziira ku kye yandagako.

Nnasooka kumusanga mu kkubo ng’ali n’omuwala n’ambuzaabuza nga bw’ali mukwano gwe ne mbikkiriza kubanga nalimu obuto ng’ate mmwagala nnyo.

Naddamu ne mmusanga. Bwe nnamubuuza n’angamba nti waaluganda lwe naye ng’engeri gye beekuttemu eraga bulazi era ne sifaayo.

Omulundi gwe nnasalawo okumwesonyiwa nnamusanga n’omuwala naye embeera gye baalimu saatawaana kumubuuza kintu kyonna kubanga nnamanya nti bulijjo bye yali ang’amba bwali bulimba.

Saamunyega kigambo kyonna ate n’omukazi saamulaga nti oba gw’ali naye mmumanyi, nnabayitako buyisi ne ng’enda ewuwe okumulaba ne musanga mu kkubo nnagenda eka n’obusungu obutagambika.

Ekintu kino kyampisa bubi nnyo ne mpulira nga sikyayagala kuddamu na kumutunulako. Yagezaako okunneegayirira buli lwe yansanganga mu kkubo naye kye nnakola ne nkyusa ekkubo mwe nnaayitanga nneme kumusanga.

N’olwekyo bawala bannange abali mu masomero eby’abasajja mubyesonyiwe muleme kugwa ku bizibu nga nze bye nnatuukako.

Obwenzi bwantamya omusajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...