TOP

Ebiremesa okuzza ku mwana

Added 29th April 2014

Omwana bwe yaweza emyaka ebiri, twatandika okulindirira olubuto, wabula n’okutuusa kati sinnalabawo kabonero.



NZE Olivia Nassuuna mbeera Namungoona. Nnafuna bbebi nga nga December 18 2009. Oluvannyuma lw’emyezi mitono twateesa ne munnange ntandike enkola y’ekizaalaggumba okutuusa ng’omwana awezezza emyaka ebiri era ne bankuba empiso.

Omwana bwe yaweza emyaka ebiri, twatandika okulindirira olubuto, wabula n’okutuusa kati sinnalabawo kabonero.

Wabula nkyali mugumu nti osanga mu mwaka guno nja kusobola okuzza ku mwana ono.
Abasawo bagamba nti abakazi 80 ku 100 abalemwa okufuna embuto ekizibu kiva ku nseke.

Ebiremesa abafumbo okuzza ku mwana Dr. Jafhar Nyombi omukugu mu mbeera z’abakyala akolera
mu ddwaaliro e Naggulu agamba nti okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko, okubulwa
omwana abafumbo bombi bavunaayizibwa.

Agamba nti wadde omusango abantu bagussa ku mukazi naye enkwaso z’omusajja zikola kinene mu kutonda bbebi. “Enkwaso tuzeekenneenya okukakasa oba nga nnamu, zirina omutwe n’omukira, si
nnema era zisobola okuwuga okusisinkana eggi ly’omukazi.

Kuno kwe tugatta okupima obungi bwazo. Bino bwe biba tebiyimiridde bulungi, kitegeeza nti emikisa
gy’omusajja okufunyisa omukazi olubuto giba mitono.

Ensonga endala ezivaako abasajja okulemwa okufuna bbebi mwe muli abalina ensigo ezaasigala waggulu, abaalongosebwa obubi obusuwa omuyita enkwaso ne bwonooneka n’abakolera mu
bifo by’ebbugumu.

Bino bikosa obungi n’enkwaso z’omusajja mu ngeri ezitali zimu. Ate ku ludda lw’abakyala, Nyombi agamba nti ekizibu kino oluusi kiva ku buzaale.

Agamba nti waliwo abazaalibwa ng’amagi gaabwe oba nnabaana biriko ekikyamu. Ate abalala baba n’amagi nga gaayonooneka nga kino kiva ku butwa obuba mu mubiri.

Endwadde z’ekikaba nazo zikola kinene mu kuzibikira enseke z’abakyala naddala singa tezijjanjabwa mangu. Bwe zizibikira, kitegeeza nti enkwaso z’omusajja teziba na kkubo we ziyita kusisinkana ggi okutonda omwana.

Okuggyamu embuto.
Omukazi bw’aggyamu olubuto,  obuwuka obw’omutawaana obw’ebika eby’enjawulo busobola okuyingira mu nseke ne nnabaana ne bubyonoona mu ngeri ezitali zimu n’okubizibikiza.

Emyaka.

Abakyala batuuka ekiseera amagi agazaala ne gabaggwaamu. Abakyala abali wakati w’amyaka 45 ne 55 baba tebakyasobola kufulumya ggi lya buli mwezi. Ow’ekika kino aba talina mukisa gwa kufuna lubuto.

Obusimu okukendeera.
Waliwo embeera mu butonde jjawo mu bakyala abamu obusimu obukola mu kusindika eggi buli
mwezi ne bukendeera oba okuggweera ddala mu mubiri. Kino kitegeeza nti taba na mukisa gufuna
lubuto.

Buno buba bulwadde obwetaaga okuzuulwa n’okujjanjabwa amangu okutereeza embeera.
Waliwo n’obulwadde obulumba amagi ne gazimba.

Oluusi buba buzimba obugeerippako ne gatuuka mu mbeera nga tegayinza kutonda mwana. Abakazi abatera okulumbimbwa embeera eno, batawaanyizibwa nnyo ekizibu ky’omugejjo.

Abakazi abagwa mu kiti kino baba n’obwoya ku mibiri gyabwe era batawaanyizibwa nnyo n’endwadde
ya ssukaali. Okutulugunyizibwa kw’obwongo okuva ku kweraliikirira, okwekyawa, okutya n’ebirala bikosa obwongo ne bulemwa okuweereza obusimu obuvunaanyizibwa ku nsonga y’okusindika eggi erya buli mwezi.


Omubiri okugaana olubuto.

Waliwo abakazi abafuna embuto kyokka emibiri gyabwe ne giziremesa okukuliramu. Ez’ekika
zino zivaamu nga zaakatondebwa omukazi n’atasobola kumanya nti olubuto lubaddemu ne luvaamu.
Ssaayansi by’atannyonnyola.

Waliwo ensonga ezaalemwa bannassaayansi okunnyonnyola. Abafumbo bayinza okukeberebwa nga tebalina kizibu, beegatta mu biseera ebituufu kyokka olubuto ne lugaana.


OKUGGYAWO EMBEERA ENO

Gano ge gamu ku makubo Nyombi g’awa abali mu mbeera eno Okulaba abasawo. Abasawo balina obukugu obw’enjawulo obwekebejja omusajja n’omukazi okuzuula embeera y’ebitundu by’omubiri gwe
ebivunaanyizibwa mu kuzaala.

Bwe wabaawo ekitateredde ne bagezaako okukizza mu mbeera. Omukazi olina okuba ng’ogenda
mu nsonga zo ez’ekikyala buli mwezi.

Omukazi okufuna olubuto kimwetaagisa okuba ng’alaba omwezi mu kiseera ekituufu. Bw’aba tafuna mbeera eno kitegeeza nti tayinza kufuna lubuto.


Okwegatta mu mukwano.

Abafumbo kibeetaagisa okuba nga beegatta mu mukwano emirundi egitakka wansi w’esatu buli wiiki.
Kino kyongera ku mikisa gyabwe egy’okutonda omwana.

Eggi ly’omukazi lifuluma omulundi gumu gwokka era liwangaala essaawa 24 zokka.
EMBEERA ENDALA EZIKOSA OKUZAALA

1 Omwenge. Guno gukosa obwongo mu ngeri ezitali zimu. Mu ngeri eno obwongo bulemwa okukola obulungi omulimu gwabwo omuli n’ okusindika obusimu obuvunaanyizibwa mu kusindika eggi erya buli mwaka.

2 Omugejjo.

Guno nagwo guyingirira obusimu obuvunaanyizibwa ku nsonga y’okuzaala. Guviirako obusimu obw’ekika ekirala okuba obungi mu mubiri ne bubuutikira ekika ky’obusimu bw’ekikyala obuvunaanyizibwa mu kuzaala.

3 Endya. Abafumbo kibeetaagisa okulya emmere erimu ebirungo ebiyamba ku kukola amagi n’enkwaso z’omusajja. Ebyokulya ebirimu ekirungo kya vitamiini ’ E’nga ebyennyanja, enva endiirwa, amagi
n’ebirala.

Mu ngeri y’emu Dr. Lawrence Kazibwe naye omukugu mu nsonga z’abakyala akolera mu ddwaaliro e Mulago agamba nti mu nsonga y’abafumbo okulemwa okuzaala, abakyala bavunaanyizibwa ebitundu
60 ku 100 olwo ebisigadde biba bya basajja.

Kazibwe annyonnyola nti ebintu abasawo bye batunuulira ku musajja alemeddwa okufunisa munne olubuto, mwe muli oba asobola okuyimirira mu nsonga y’ekisajja, amazzi g’afulumya oba mulimu enkwaso ate nga nnamu bulungi wamu n’obungi bwazo.

Agamba nti bino byonna bwe biba birungi. kitegeeza nti ekizibu kiyinza okuba ku mukazi. “Ku mukazi, twekenneenya ekkubo lye ery’omukwano, ekkubo lya nnabaana okukakasa oba liggule, enseke oba nzigule bulungi n’ebirala ebyekuusa ku nsonga eno.

Abakazi 80 ku 100 abalemwa okufuna embuto kyokka nga bagenda bulungi mu nsonga, enseke zaabwe ziba zaazibikira.”

Ebiremesa okuzza ku mwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...