TOP

Bukedde anfunidde embooko

Added 6th May 2014

ABEEFUNIRA ku pulogulaamu y’omukwano ku Bukedde Fm batenda laavu gye balimu. Simon Katongole, 34, ow’e Ziroobwe-Kyetume mu Luweero ye yeefunidde mwana muwala Jane Nabulya, 23, ow’omu Kalagi ku pulogulaamu y‘Ekkwaano Guest House ebeera ku Bukedde Fm buli lunaku okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaan



ABEEFUNIRA ku pulogulaamu y’omukwano ku Bukedde Fm batenda laavu gye balimu.
Simon Katongole, 34, ow’e Ziroobwe-Kyetume mu Luweero ye yeefunidde mwana muwala Jane Nabulya, 23, ow’omu Kalagi ku pulogulaamu y‘Ekkwaano Guest House ebeera ku Bukedde Fm buli lunaku okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 4:00 okutuuka ku 7:00 ogw’ekiro.

Katongole agamba nti, eddoboozi lya Nabulya lye lyasooka okumukuba era bwe yamuwa omukisa basisinkane naye teyasibamu. Nnamunoonya mu Kalagi gye nnamusanga ku kyalaani ky’atunga.

Nga sinnamufuna nnalinako abakazi babiri era nnina abaana babiri naye kirabika Nabulya ye mukazi wange ow’ebirooto.

Ng’oggyeeko omukwano gw’andaga, afaayo nnyo ate tankaluubiriza mu byassente ng’abalala bwe baali bakola anti ne bwe mmuwa 5,000/- oba 2,000/- asiima,” bwatyo Katongole bwe yawaanye Nabulya n’agattako nti bategeka kwanjula ekiseera kyonna.

Ye Nabulya agamba nti Katongole okubeera n’abaana takirinaako buzibu kubanga naye alinayo babiri era buli muntu ageezezzaako okubuulira munne ebyama bye okulaba nga bongera okwetegeera n’okukwatagana olwo omukwano gwabwe gutinte.

Bukedde anfunidde embooko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...