TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obuteekubagiza gwe mulamwa kwe ntambulira

Obuteekubagiza gwe mulamwa kwe ntambulira

Added 6th May 2014

NNAYINGIRA obufumbo mu 1984 wabula oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga tuzadde n’abaana munnange yatandika okunafuwa mu mbeera z’obulamu bwe.



NNAYINGIRA obufumbo mu 1984 wabula oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga tuzadde n’abaana munnange yatandika okunafuwa mu mbeera z’obulamu bwe.

Nze Betty Nansubuga 48, mbeera mu kibuga ky’e Wakiso. Mu bbanga ettono eryo taata w’abaana yatawanyizibwa nnyo obulwadde obw’enjawulo omwali akafuba n’omusujja.

Mu 1999 obulwadde bwamugonza okutuusa lwe bwamuggya mu bulamu bw’ensi eno.

Nze ku lwange saamanya nti yali afudde mukenenya. Naye oluvannyuma lw’ebbanga nnange natandika okutawaanyizibwa obulwadde obw’enjawulo.

Amagulu ge gaasinga okunnuma ennyo ne gambuza emirembe. Ekiseera kyatuuka nga sikyasobola kutambula nga bansitula busituzi.

Embeera eno yampaliriza okugenda mu Aids Information Centre e Mengo okwekebeza omusaayi okumanya bwe nnyimiridde.

Eno oluvannyuma lw’abasawo okumbudaabubuda bantegeeza nga bwe nnina akawuka akaleeta siriimu.

Okutwalira awamu ssaatya kubanga embeera nnali ngisuubira olw’obulumi bwe nnalimu okumala ebbanga bwe ssaalina mu kusooka.

Bansomesa ku ngeri y’okutambulamu n’obulwadde buno nsobole okukuza abaana bange.

Nneeyongerayo mu ddwaaliro e Mulago okwongera okufuna obujjanjabi. Eno bankebera ne bansanga n’akafuba. Bampa obujjanjabi era ekirungi ne mpona.

Oluvannyuma nneegatta ne ku kibiina ekibudaabuda abalwadde b’obulwadde buno ekya TASO ekyakola omulimu omunene mu kumbudaabuda n’okunzijanjaba buli ndwadde eyali emmazeeko emirembe.

Mu kiseera kino bampa n’amagezi g’okutandika eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu. Okuva olwo ndi mukazi mugumu, omulamu obulungi era atambula n’essuubi .

Ebinnyambye okutambula n’obulwadde okumala ebbanga;
1 Okulya obulungi n’okunywa. Emmere ly’eddagala ly’obulwadde buno erisinga obukulu. Nfuba okulaba nga ndya emmere oy’omugaso eri omubiri gwange.
Ebijanjaalo, omuceere, obuugi, amata, enva endiirwa n’okunywa amazzi agawera. Buli lunaku nnywa liita z’amazzi ezitakka wansi wa ssatu. Gano gannyamba okumenyaamenya emmere n’esobola okukola obulungi.

2. Okwesonyisa ensonga z’abasajja. Bukya munnange andekawo, siddangamu kwesembereza musajja mulala yenna.

3 Okwekolera. Mu kiseera kino nnina edduuka erinnyamba okuyita mu lunaku nga nnina ebintwalira obudde.Embeera eno ennyamba okuba nga nnina bye nkola buli bbanga.

4 Obuteekubagiza. Situula awo ne nneekubagiza olw’okuba nnina obulwadde buno era sibutwala ng’ekizibu eky’amaanyi mu bulamu bwange. Eno y’ensonga lwaki seesaasira mu mbeera y’obulamu bwange bwonna.

5 Okwekwata ku Katonda. Ab’oluganda mu Kikanisa yange eya St.Paul,Kisimbiri bannyambye nnyo okutambula nange mu mbeera eno.

Bano bampa omukwano n’essuubi ekinnyambye okutambula nga ndi mugumu. Eno y’embeera ennyambye okukuza abaana bange ne mbatuusa we bali leero nga basanyufu.

Obuteekubagiza gwe mulamwa kwe ntambulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...