TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe nnazaala obwagazi bw'okwegatta ne bufa

Bwe nnazaala obwagazi bw'okwegatta ne bufa

Added 10th June 2014

Marion Tino omutuuze w’e Namuwongo mu Kampala, alina omwana omu era agamba nti engeri abasajja gye bayisaamu abakazi nga bazadde oluusi y’etta obwagazi.



Marion Tino omutuuze w’e Namuwongo mu Kampala, alina omwana omu era agamba nti engeri abasajja gye bayisaamu abakazi nga bazadde oluusi y’etta obwagazi.

“ Nze nnafumbirwako kyokka ne mbivaako nga ndaba sirina mirembe, olw’omusajja okuntulugunya. Okusooka twali bulungi era nga sirina kye njula mu by’omukwano.

Wabula bwe nnazaala obwagazi ne bufiira ddala olw’emize omusajja gye yandaga. Yatandika obutampa buyambi ate ng’ayagala twesanyuse.

Nnalabira awo nga sikyanyumirwa bya kwegatta, era obufumbo ne mbuvaamu. Abasajja bangi abeemulugunya olwa bakyala baabwe okubulwa obwagazi oluvannyuma lw’okuzaala.

Dr. Musa Nkalubo owa Your Clinic ku Mwanga 11, agamba nti; “Akaboozi okunyuma mu bakazi, waliwo empagi nnya ezikafuga, nga kuliko; okubeera n’eddembe mu mutima, okulya n’akkuta, okubeera ng’oyagalwa awamu n’okubeera mu kifo ekituufu.

EKIFO EKITUUFU:
Abantu abamu obasanga ng’ebifo mwe babeera oba mwe baagala okunyumiza akaboozi, tebiwa munno mirembe kweyagala.

Gamba nga ennyumba etaatuuka, nga munno atya nti bw’anaakweyabiza, kyangu baliraanwa okuwulira

OKUMULAGA OKWAGALA:
Omukazi bw’aba tannatandika bya mukwano ayagala amanye nti ddala munne amwagalira ddala tamwagalako zaabu we yekka.

ALIDDE N’AKKUTA: Omuntu bw’akkuta kimubeerera kizibu obutanyumirwa kaboozi. Jjukira nti okwegatta kwetaaga amaanyi. Olubuto bwe luba lukalu, ebintu kizibu okutambula obulungi.

Okumanya okukkuta kikulu ye nsonga lwaki otera okuwulira abakazi nga bagamba nti; “nze baze kasita aleka ssente, ebisigadde sinonooza’.

Omukyala bw’aba omuyala abulwa amazzi mu mubiri, era n’agaseereza ekkubo gaba ga kunoonya nnyo.

EDDEMBE MU MUTIMA:
Dr. Nkalubo agamba nti omukyala bw’ataba na ddembe mu mutima kizibu okunyumirwa akaboozi. Eddembe teritegeeza kuleeta makutiya ga mmere gokka. Abasajja basaanidde okukimanya nti abakyala baagala nnyo amazima.

Eno y’ensonga lwaki omukazi alina eddembe alya mukene n’entula nga bimuwoomera okusinga alidde ennyama

LWAKI OMUKYALA BWAZAALA ABULWA OBWAGAZI:
Dr. Nkalubo agamba nti si kituufu nti omukyala bw’azaala abulwa obwagazi bw’okwegatta, wabula kino kibaawo mu bakazi abamu olw’ensonga ez’enjawulo.

Agamba nti omukazi bw’azaala, eddembe lye yalina limuggwaako, kuba aba alowooza bbebi.
Agattako nti abakyala abamu bazaalira ku myaka ng’obwagazi bukendedde, naddala abasussizza emyaka 35. Kino bw’agattako ebimutawaanya ebwagazi bubulira ddala.

Ekirala bannakawere tebafuna budde kuwummula, era buli kiseera baba bakoowu.

Dr. Nkalubo awa abasajja amagezi nti bw’olaba nga munno azadde ate nga takyalina bwagazi, ssooka weebuuze oba ng’ekifo kye mulimu kye kituufu? Alya n’akkuta? Talina bimusumbuwa n’ebirala ng’ebyo, ojja kulaba nga muzuula amagezi ku nsonga eno.

Bwe nnazaala obwagazi bw’okwegatta ne bufa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...