TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga abasajja ze beekwasa okwepena akaboozi

Ensonga abasajja ze beekwasa okwepena akaboozi

Added 1st July 2014

Obadde okimanyi nti omupiira gwe muzannyo ogusinga okukwata abasajja omubabiro? Okumanya gubakwata abamu batuuka n’okugusikiza akaboozi. Anti ttiimu gy’awagira bw’eba eneezannya eby’ekisenge tonyumya.



Obadde okimanyi nti omupiira gwe muzannyo ogusinga okukwata abasajja omubabiro? Okumanya gubakwata abamu batuuka n’okugusikiza akaboozi. Anti ttiimu gy’awagira bw’eba eneezannya eby’ekisenge tonyumya.

Omupiira n’akaboozi bw’obigeraageranya bifaanagana mu buli kimu. Omupiira bwe gukukwata omubabiro oyinza okufuna olusujjasujja n’ekitengo, engeri gye gutambulamu, guyinza okukuteeka ku bunkenke ate nga gwe muzannyo omuntu gw’asobola okulaba n’omutima gwe gwonna.

N’olwekyo abakazi bangi okwetooloola ensi yonna ekiseera kino bali ku bunkenkenke olw’entujjo y’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna.

Anti abasajja basula bweru mu bibanda bya mipiira , abamu bayingira bukya ate abandi bwe basalawo okugulabira awaka, tebakkiriza kuva ku ttivvi. Bano ebitanda baabizza mu ddiiro anti ekiro kyonna bakimalirako mu ddiiro.

Okunoonyereza okwakoleddwa mu Bulaaya kulaga nti ku baagalana abali mu mukwano omuggya, abasajja ebitundu 42 ku 100 mu kisenge bawunyayo buwunyi batere balabe omupiira nga tegunnabayitako.

Era oyinza okwesanga ng’akamangu kano batera kukakolera mu kinaabiro oba nga baakamala okunaaba.

Era abasajja 27 ku 100 bakkirizza nti oluba okuyingira e Namboole ebirowoozo byonna bidda ku mupiira olwo ne batatuukiriza mirimu gya mu kisenge.

Abasajja 40 ku 100 bagamba nti tebasobola kunyumya kaboozi ng’essaawa z’omupiira zituuse. Abamu bakandaaliriza abaagalwa baabwe okumalako sizoni yonna.

Abasajja bye beekwasa obutanyumya kaboozi:
1.Ayinza okukugamba nti ng’enda kulaba mupiira.

2.Oluddako awoza, munnange nno olowooza omugongo gundi bulungi! Sijja kumalako ate saagala kukukomya mu kkubo.

3.Bw’alaba olemeddeko olulala, ng’awoza nti nkooye nnyo olwaleero era kw’olwo yeebaka yeevuunise oba nga yeezizise akatto wakati mu magulu.

4. Ate bw’aba waakulaba mupiira mu kibanda kw’olwo tabulwa ky’awoza olugira ng’akugamba nti leero nnina okukola ekiro, ate onoomugaana?

Bw’aba takugambye ekyo, waakiri afuna gy’akugamba nti gy’acadde okwewala okutuuka awaka mu budde.

5 Oluusi omulabira ku butava mu ddiiro. Okanda kumuyita mwebake nga tanyega oba oluusi okukugamba nga bw’alina eby’okukola.

6.Oluusi bamanyi okwekwasa nga bwe batawulira bulungi, ne bikusobera kuba munno oba omwetegekede okumala olunaku lulamba.

7.Waliyo abamu nga buli lw’adda awaka awoza enkya nnina okukeera, mukwano onzuukusaako obudde tebumpitako, bwoba gwe omukolera ki? Oyinza okumuzza mu by’emmese?

Wabula abasajja balina okukola ekisoboka okulaba nga buli eddakiika 90 oluggwaako, basanyusa abaagalwa baabwe.

Ensonga abasajja ze beekwasa okwepena akaboozi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabbaale

Omugagga Nabbaale akungubag...

OMUGAGGA Teopisita Nabbaale owa Maria And Jesus ekola wayini agamba nti yatandika okulaba omugenzi Dr. Cyprian...

Emirango n'ebiwoobe bibuuti...

Emirango n'ebiwoobe bibuutikidde lutikko e Lubaga mu kuziika Ssaabasumba Lwanga

Omukolo gw'okuziika Ssaabas...

Omukolo gw'okuziika Ssaabasumba Lwanga mu bifaananyi

Paapa alonze Bp. Ssemwogere...

Paapa alonze Bp. Paul Ssemwogerere, ow'essaza lya Kasana - Luweero okubeera Ssaabasumba w'essaza lya Kampala ow'akaseera....

Paapa akungubagidde Ssaabas...

Paapa akungubagidde Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ng'ono obubaka obukungubaga abutisse omubaka we mu Uganda,...