TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwegatta ku TASO kye kyanziza engulu

Okwegatta ku TASO kye kyanziza engulu

Added 29th July 2014

EKISEERA kyatuuka buli omu n’ampaayo n’alindirira ssaawa yokka ya kunziika. Nze Peter Ziriddamu 45, mbeera mu kibuga ky’ e Kakiri mu Wakiso.



EKISEERA kyatuuka buli omu n’ampaayo n’alindirira ssaawa yokka ya kunziika. Nze Peter Ziriddamu 45, mbeera mu kibuga ky’ e Kakiri mu Wakiso. 

Omwaka gwa 2000 gwali muzibu nnyo mu byafaayo by’obulamu bwange. Nnalumbibwa endwadde ez’enjawulo omwali omusujja n’ekifuba ebyang’onza ennyo ne nnemwa n’okubaako omulimu gwonna gwe nkola.

Mu 2003 mukwano gwange omu yankwata ku mukono n’antwala mu ddwaaliro lya Gavumenti ery’omu Kisenyi okunkebera ekyali kivaako obuzibu.

Eno gye baazuulira nga bwe nnalina obulwadde bw’akafuba. Mu mbeera y’emu banzigyako omusaayi gwa siriimu era ne bazuula nga mbulina.

Banteeka ku ddagala kyokka engeri gye nnali mmaze ebbanga nga sifuna bujjanjabi, bwagenda bugenzi mu maaso.

Nneeyongerayo mu Mulago omukadde okwongera okufuna obujjanjabi. Eno nno nnamalayo emyezi ebiri nga ndi bubi nnyo okutuusa lwe nnasaba okuddayo awaka.

Bwe nnatuuka awaka obulwadde bwagenda mu maaso ne mbeera ku ndiri okumala omwaka mulamba.

Mu kiseera kino buli omu yali amaze okumpaayo era nange ne nzikiriza ng’obulamu bwange  bwe buweddewo.

Okwegatta ku TASO n’okutandika eddagala lya ARVS kye kyakomyawo obulamu bwange. Abasawo bampa amagezi g’okukyuka mu nneeyisa zange omuli okuva ku mirimu egy’amaanyi, okulya obulungi obuteenyigira nnyo mu nsonga  z’obufumbo wamu  n’okukozesa obupiira.

Okuva olwo obulamu bwange bwadda mu mbeera era kati nnina essuubi ly’okukuza baana bange.

Wabula obulwadde buno okutwalira awamu bunzizizza nnyo emabega. Omusajja eyali yeerimira n’okwekolera emirimu emirala omwavanga akasente akaakolanga ku byetaago byange n’abantu b’omu maka gange gaagenda.

Eno y’ensonga lwaki mu kiseera kino abaana bange abakulu baava mu ssomero nga n’abato boolekedde okugobwa olwa fiizi ze sikyasobola kunoonya kubaweerera.

Obulamu bwange  mu kiseera kino si bwangu kubanga ebiseera ebisinga n’eky’olya kifuuka ekizibu kubanga sikyakola bulungi mirimu egivaamu ssente. 

Ate eddagala lye nkozesa lyetaaga okulya obulungi.   

Bwe wabaayo omuzirakisa alina engeri yonna gy’asobola okunziruukiriramu ndi ku ssimu; 07849 82820 oba 0757341446.

 

Okwegatta ku TASO kye kyanziza engulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...