TOP

Olusirika ndukole ntya?

Added 7th August 2014

Mukazi wange yagenda mu lusirika kati emyezi esatu.Nkole ntya?Mukazi wange yagenda mu lusirika kati emyezi esatu. Kyokka bwe mubuuza ekyamunyiiza ang’amba tewali ate nga mwagala nnyo naye ang’amba nti anjagala.

Emirimu gy’awaka gyonna agikola okuggyako ensonga z’omu kisenge ate saagala kubaliga. Nkole ntya? Nze Paul K Zzana.

Mwana wange lwaki okkiriza olusirika luno, omanyi nti lutta amaka mangi. Funa obudde omubuuze lwaki yeeyisa bw’ati. N’ekirala mugambe nti oyisibwa bubi okuba mu mbeera eno.

Oli musajja mufumbo era olina okwegatta ne mukyalawo okuggyako nga mulwadde. Oba akugamba nti tewali nsonga olina okugenda mu bazadde naddala ssenga we ayogere naye.

 

Olusirika ndukole ntya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...