TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri okugenda mu nsonga gye kwongera obwagazi mu bakazi-Basawo

Engeri okugenda mu nsonga gye kwongera obwagazi mu bakazi-Basawo

Added 26th August 2014

AKAMU ku bubonero bw’omuwala avubuse kwe kuzza omukono emabega. Embeera eno abawala abamu ebayisa bubi. Waliwo abalumwa enjoka, abafuna omusujja, okulumizibwa mu nnyingo n’ebizibu ebirala.

AKAMU ku bubonero bw’omuwala avubuse kwe kuzza omukono emabega. Embeera eno abawala abamu ebayisa bubi. Waliwo abalumwa enjoka, abafuna omusujja, okulumizibwa mu nnyingo n’ebizibu ebirala.

Eno y’ensonga lwaki abamu batuuka okwetamwa okugenda mu nsonga ne batandika n’okulowooza ku lunaku lwe balikoma okugendamu.

Lwaki abakazi bagenda mu nsonga:
Dr. Michael Balikuddembe omukugu mu mbeera z’abakyala akolera e Mulago agamba nti buli mwezi omukyala atannatuuka myaka gikoma kulwala agenda mu nsonga ekiyitibwa okulaba omwezi.

“Mu mbeera eno, eggi erikuze liva mu nsawo y’amagi okulindirira enkwaso z’omusajja okukola omwana.
Mu nnaku wakati wa 10 ne 14 bwe litafuna nkwaso, akabubi akaba katondeddwa okuwanirira omwana kaggwaamu amaanyi ne katandika okufuluma ng’omusaayi.

Okugenda mu nsonga n’obwagazi: Dr. Balikuddembe agamba nti mu nnaku zikulembera okugenda mu nsonga omukazi aba n’obwagazi kubanga obusimu bw’ekikazi obuyitibwa ‘estrogen’ buba bungi ddala mu mubiri.

Nti era mu ngeri y’emu mu nnaku wakati wa 10 ne 14 omukazi w’asuulira eggi ate obwagazi busukka kubanga ekirungo kino kiba kingi nnyo mu mubiri.

Mu kiseera kino olw’okuba mw’asuulira eggi aba n’emikisa mingi egy’okufuna olubuto singa aba yeegasse n’omusajja.

Ag’emugga gaba mangi era n’ebbugumu mu mubiri ne mu bukyala liba lingi.

Obusimu obukola ku nsonga y’omukazi okugenda mu nsonga era bwe buyamba akabubi ka nnabaana akawanirira omwana okukula, okugejja n’okuguma okweteekerateekera okuwanirira omwana. Kuno kwe bugatta okwongera amaanyi mu ntambula y’omusaayi ne gusobola okutuuka ku bitundu by’omubiri gw’omukyala.

Bino byonna bwe bibaawo biyamba omukazi okudda obuggya buli kiseera n’atakaddiwa.

Era omukazi bw’akoma okulaba omwezi atandika okukaddiwa ku sipiidi eya waggulu kuba obusimu bukendeera mu mubiri era n’obwagazi bw’okwegatta ne bufa.

Enkyukakyuka endala ezireetebwa embeera y’okukoma okulaba omwezi mulimu okuyiikirwa ebbugumu, okukubwa entunnunsi, puleesa okulinnya, okulumwa amagulu n’amagumba, omugejjo, okubulwa otulo, okwerabira, okukuluusanyizibwa kw’obwongo n’endala.

Eddagala eriyamba ku mukazi ali mu mbeera eno: Balikuddembe agamba nti waliwo eddagala eririmu ‘obusimu obukyala’ eriweebwa omukazi ali mu mbeera eno ne likendeeza obubonero obwo.

Wabula agamba nti lino likendeeza n’okuggyawo obubonero wabula teriyamba mukazi kuddamu kugenda mu nsonga.

Agamba nti eddagala lino liteekebwa mu bizigo omukazi n’abyesiiga ku lususu ne mu bukyala. Nti ate waliwo ery’amakerenda n’erikubibwa mu mpiso.

Waliwo obuzibu obuli mu kukozesa eddagala ery’ekika kino?
Balikuddembe agamba nti eddagala lino livaako kkookolo w’omumwa gwa nnabaana. Agamba nti omukyala okulikozesa kyetaagisa okusooka okumuggyamu nnabaana okusobola okukendeeza emikisa gy’okukwatibwa endwadde eno.

Waliyo eddagala eryongezaayo ebbanga ly’omukazi okugenda mu nsonga? Balikuddembe agamba nti wadde mu butonde waliyo abakazi abasigala nga bakyagenda mu nsonga zaabwe okusukka emyaka 55 naye teri ddagala lisobola kumwongerayo kulwala omukazi bw’aba akomye.

Wabula agamba nti omukazi okutuuka ekiseera kino ng’akyalwala kya bulabe. Annyonnyola nti mu kiseera kino akabubi ka nnabaana kaba kanafuye ekyongera ku mikisa gy’omukazi okufuna kkookolo w’omumwa gwa nnabaana.

Mu mbeera eno agamba nti omukazi aweebwa eddagala eryokya amagi ge oba okumuggyamu nnabaana.

Lwaki omukyala akoma okulwala nga tannaweza myaka egyo?
Balikuddembe agamba nti singa omukyala atannaweza myaka 40 amala omwaka nga tagenze mu nsonga, kitegeeza nti ayingidde ekiseera ky’obutalwala ekiyitibwa ‘early monopause’.

Agamba nti ebimu ku bireetawo kino mulimu:
1 Nga kiri mu famire, kya nsikirano.
2 Nga yalwawo okutandika okulaba omwezi.
3 Nga yakozesa ku ddagala eryayokya amagi ge.
4 Nga yalongoosebwa n’aggyibwamu amagi.
5 Nga nnabaana yayabika ne bamumuggyamu.
6 Nga yalongoosebwako obulwadde bwa kookolo amasannyalaze ne gookya amagi.

Balikuddembe agamba nti omukazi atakyagenda mu nsonga kikulu okulya obulungi naddala emmere erimu ebirungo bya vitamini ne ‘minerals’ nga soya, ebyennyanja, ennyama n’enva endiirwa.

Mu birala mulimu okukola dduyiro okusobola okulwanyisa omugejjo n’obuteeraliikirira.

Ate Dr. John Bime akolera mu Beta Clinic e Nateete agamba nti enkyukakyuka ez’amaanyi omukyala asinga kuzifuna amangu ddala nga yaakakomekkereza ensonga z’okulwala.

Ku mbeera eno Bime agamba nti kyetaagisa omukyala obutalowooza nnyo ku mbeera eno n’obutagitwala ng’ekizibu.

Ate Aisha Nakasujja owa Aloesha Organic agamba nti kituufu abakazi abatuuse mu mbeera eno bafuna ekizibu ky’obwagazi bw’ekisenge okukendeera.

Mu mbeera eno agamba nti kyetaagisa omukazi okwekwata akattulula n’eddagala eriyitibwa mazzi okusobola okudda mu mbeera n’afuna obwagazi bw’okwegatta.

Engeri okugenda mu nsonga gye kwongera obwagazi mu bakazi-Basawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga bakonkomalidde awaagudde ekimotoka.

Balaajanidde poliisi ku loo...

Abatuuze b'e Luseera - Kateera e Kiboga balaajana olw'ekimotoka ekizibye ekkubo lyabwe nga kati kimaze wiiki nnamba...

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekku...

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa...

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

Batidde bazadde ba Lukwago ...

ABOOLUGANDA lwa Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago abaasangiddwa e Kabungo mu ggombolola y'e Kyamuliibwa e Kalungu...

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...