
OKUVIIRA ddala nga bamaze okunkakasa mu ddwaaliro nti nnina akawuka akaleeta mukenenya abooluganda bonna banzirukako.
Bwe ng’enda awaka ne nsaba ekyukunywa bakimpeera ku ccupa ate olumala okunywerako nga bagikasuka mbu tebaagala kusiigibwa kawuka kaleeta mukenenya.
Ate omusajja eyanzaalamu omwana yadduka kati ajja kiro n’ankaka omukwano.
Nze Maria Nakisitu 31, mbeera Kyabakadde mu Ggombolola y’e Kyampisi mu Disitulikiti y’e Mukono.
Muganzi wange bwe yafa mu 2004 nnasalawo okugenda mu ddwaaliro okumanya bwe nnyimiridde ku nsonga ya siriimu.
Kino nnakikola kubanga muganzi wange ekiseera we yafiira yali akolera ku mwalo e Katosi, ate engeri gye yafaamu teyali nnambulukufu.
Bwe nnatuuka mu ddwaaliro bantegeeza nga bwe nnina akawuka akaleeta siriimu era kati nnakamala nako emyaka 10.
Abasawo bambudaabuda ne bandagira okumira eddagala wamu n’okukomya eby’okwegatta n’abasajja.
Mu kiseera ekyo nnalina abasajja nga bana be nnali ng’anza era bwe nnakomawo okuva mu ddwaaliro buli omu ne mmutegeeza nti nnina akawuka ka siriimu, era ne mbasaba bagende beekebeze bamanye bwe bayimiridde, wabula ne bagaana.
We njogerera ng’abasatu ku bbo baafa, wasigaddewo omu yekka. Mu 2012 waliwo omusajja eyanzaalamu omwana wabula tayagala kumpa buyambi bwonna ate nga n’ekisinga okunkwasa ennaku kye ky’okuba ng’olumu ajja ekiro n’ankaka omukwano mu kiyumba mwe nsula.
Ebiragiro abasawo bye bampa byonna mbadde nfubye okubigoberera era nga kino kimpadde ku buwangaazi wabula obulamu obwa bulijjo bunkaluubiridde nga sirina kyakulya awamu n’abaana bankaluubiridde okubalabirira.
Mu kusooka nnali njiiya ne tubaawo naye gye buvuddeko nnalwala okugulu ne bampa ekitanda mu ddwaaliro e Naggalama. Bwe nnavaayo ne ngezaako okugenda mu b’eng’anda bampe ku buyambi wabula ne siyambibwa.
Ekibi nti bansosola era tebayagala kukozesa bintu bye nkutteko nga batya okubasiiga siriimu.
Nnasalawo okutandika okusula we nsanze okutuuka omuzirakisa bwe yannyambye n’ampa ekiyumba omwokusula wabula muno temuli luggi ng’empewo empisa bubi nnyo.
Ekyasinze okummalamu amaanyi kwe kuba ng’abaana bange tebasoma era basiiba njala okuggyako nga waliwo omuzirakisa atuwadde emmere.
Abeng’anda abandinnyambye bansuula n’omusajja eyanzaalamu yanzirukako. Nsaba abasomi ba Bukedde abalina engeri y’okunnyamba bankubireko ku 0713938800 naye ndi bubi.
Abooluganda bansosola olw’okuba ne siriimu