TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Emitendera gya lomansi egiyamba omukazi okunyumirwa omukwano

Emitendera gya lomansi egiyamba omukazi okunyumirwa omukwano

Added 16th September 2014

OMUZANNYO gw’obufumbo gunyuma abaagalana bagwetegekedde bulungi. Wadde okwetegeka kulina okuba ku sayidi zombi, naye omukazi ateekeddwa okutegekebwa mu ngeri ey’enjawulo.


OMUZANNYO gw’obufumbo gunyuma abaagalana bagwetegekedde bulungi.

Wadde okwetegeka kulina okuba ku sayidi zombi, naye omukazi ateekeddwa okutegekebwa mu ngeri ey’enjawulo.

Okutegeka kuno oba Omuzungu ky’ayita ‘romance’ (soma lomansi) nsonga nkulu nnyo era bw’ebulawo olwo akaboozi kaba kafuuse ka kutuusa luwalo naye nga temuba kunyumirwa.

Ekibi, abasajja bangi abatalina bugumiikiriza era abamu balowooza nti ebya lomansi bya kumala biseera.

Ng’oggyeeko abo, waliwo ate abatamanyi ngeri ya kukolamu lomansi sso nga bandiyagadde okumukola okusobola okunyumirwa n’okunyumisa omukwano.

Dr. Rogers Bazigu akolera mu FOH Medical Centre e Nansana agamba nti abaagalana bwe bakola lomansi ayamba omubiri okusumulukuka ne baggwaamu okwetya kwonna.

Agattako nti mu mubiri mulimu ekika ky’obusimu ekiyitibwa ‘adrenaline’ nga kino bwe kiyitirira kikosa ensonga z’omukwano.

“Obusimu buno mu mbeera eza bulijjo omubiri gubwetaaga kuba buwa omuntu obuvumu okusalawo amangu eky’okukola mu kiseera eky’okutya.

Mu kiseera ky’okutya, omubiri gugisumulula mu bungi n’etuuka mu bwongo, mu kibumba, mu mawuggwe n’ebitundu ebirala omuntu n’afuna amaanyi n’obuvumu bw’okwetaasa mu ngeri y’okudduka oba okwerwanako.

Mu mbeera eno ebitundu by’omubiri ebitayamba mu kiseera ekyo omuli n’eby’ekyama bisalibwako omusaayi ensonga ebuza abatidde amaanyi g’okwegatta.

EMITENDERA GYA LOMANSI:

1 Omutendera ogusooka gwandibadde gwa kusooka kugamba munno ebigambo ebimuwoomera. Muwaaneko nga bwe yakula obulungi era onokoleyo ebimu ku bitundu bye ebikukuba.

2 Bino bikole nga bw’omuweeweeta ng’otandikira mu ffeesi, ensingo, amabeere n’ebitundu ebirala.
Weewale okugenda dayirekiti mu bukyala, kiyinza okumuggyako waya ebibadde eby’essanyu ate ne byonooneka.

3 Tandika okumunywegera ng’ova ku mimwa. Sooka omunywegere mpola oyongezeemu okusinziira ku ngeri naye gye yeeyisaamu.
Okunywegera kunyuma nnyo singa ogattamu okussa okumukumu okwefaanaanyirizaako gwe bagoba, naye weewale okumussiza mu kamwa kiyinza okumuyisa obulala.

3 Bw’onooba omunywegedde bulungi ojja kulaba nga yeeyongera okukuyaayaanira. Kati kyusaamu otandike okumunywegera ebitundu bye ebirala naye nga tolekerera mimwa kuba girina akalandira kanene n’ebitundu bye eby’ekyama.

4 W’onootuukira ku mutendera guno munno ajja kuba ayebye era bw’aba amanyi ky’ayagala era nga teyeetya, ajja kukusaba olambule amatwale ge.
Bwe muba mukyali mu ngoye ajja kukusumulula zzipu y’empale n’amapeesa g’essaati. Kino kiba kiraga nti atuuse ku ssa ly’okunyumirwa ebigenda mu maaso.

5 Tokemebwa n’otandika emikolo nga tosoose kuyisa ngalo buziba. Bw’otuukayo ng’amazzi agavaayo galimu oluseerera manya nti kye kiseera ekituufu okutandikira ddala emirimu kubanga munno akulindiridde n’amaddu mangi.

6 Wabula okwongera okumusumulula ppata, amaanyi sooka ogasse mu kakukufa okusibuka abalongo. Kaweeweete mpola nga bw’okafuuwako n’empewo y’omukwano. Engeri gye kaliraanye abalongo nabo tobasuulirira. Bw’onoobakwata obulungi ojja kulaba nga n’ag’emugga geeyongera.

7 Ate bw’otandika emirimu gy’emmanga eyo, eby’engulu nabyo tobyerabira. Ekkundi, amabeere, ekiwato byonna fuba okulaba ng’obunyonyoogera mu ngeri entuufu ate nga bw’omusonseka obugambo obwongera okumuwaana.

8 Kino bw’onookikola obulungi ojja kulaba ng’azibirizza era ebigambo by’anaafukumula ojja kubiwulira.

9 Teweerabira okuddira ekibatu n’okibikka ku bukyala n’onyiga mpolampola ng’anyiga emmere. Kino kijja kwongera okumusumulula, era bw’ataamaleemu kagoba mpozzi nga takwagala kuva ku ntobo ya mutima gwe.

OMUNTU YANDITUTTE BBANGA KI NG’ANOONYA MUNNE?
Dr. Bazigu agamba nti singa omuntu ateeka essira ku bitundu ebisumulula ppata, eddakiika eziri wakati w’ennya n’ekkumi zimala okusumulula ensulo z’omukwano.

Waliwo n’ebika by’emmere ebiyamba okusumulula obusimu bw’omukwano.

Bazigu agamba nti amazzi y’emmere esooka omukazi ali mu nsonga z’omukwano gy’alina okwettanira buli budde.

Annyonnyola nti omubiri ebitundu 60 ku 100 bikolebwa mazzi. Agamba nti omuntu anywa amazzi agamala asumulukuka mangu nga bali mu nsonga z’omukwano.

Emmere erimu ekirungo kya zinc nga ensujju, wootameroni, ebinyeebwa n’ebyennyanja mmere nkulu nnyo mu nsonga z’omukwano.

Bazigu agamba nti embeera endala eyamba omukazi okusumulukuka bye birowoozo bye okuba awamu. “Ebirowoozo byo bikuumire ku munno era weewale okulowooza ku bintu ebiyinza okukuwugula n’okukuggya ku mulamwa.”

Emboozi enyumizibwa nayo erina kuba ku mulamwa. Mu ngeri endala ekifo kisaana okuba ekisikiriza. Amataala agazimeera gasumulula nnyo obwagazi okusinga agaaka nga tegasalako.

Mu ngeri y’emu n’obuyonjo nabwo bwetaagisa nnyo. Obuwoowo obuwunya obulungi busumulula mangu omuntu sso ng’olusu kyangu okuggya omuntu mu mmuudu.

Emitendera gya lomansi egiyamba omukazi okunyumirwa omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.