TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga ezireetera abantu okuddira be baayawukana nabo

Ensonga ezireetera abantu okuddira be baayawukana nabo

Added 24th September 2014

ABAGANDA abaagera nti; “Entamu gye wali ofumbyemu togiyita kitamutamu baalutuusa!

ABAGANDA abaagera nti; “Entamu gye wali ofumbyemu togiyita kitamutamu baalutuusa!

Mu nsi y’omukwano abantu bangi abagwa mu mukwano wabula ne baawukana olw’ensonga ezitali zimu, naye ate oluvannyuma ate ne badding’ana.

Abamu bayinza okuba nga beenyigirako mu mukwano mu biseera byabwe eby’obuto kyokka bwe bakula buli omu n’afuna munne omulala ne bayingira obufumbo obupya.

Abalala bagenda ku misomo oba ku bintu ebirala bwe batyo ne babaako be balekawo.

Oluvannyuma abantu bano bafunayo bannaabwe abalala be bagenda nabo mu maaso. Kyokka bwe baddamu okusisinkana mu ngeri ezitali zimu beesanga badding’anye mu mukwano ogw’obubba, era ke kayitibwa akaddannyuma!

LWAKI ABANTU ABAAYAWUKANA BADDING’ANA?
Patrick Lukandwa omukugu mu kubudaabuda abantu akolera mu ABC Educational Consultancy And Applied Conselling Services e Wandegeya agamba nti omukwano ogw’ekika kino guba mwangu okuzuukusa kuba tegubaako bukwakkulizo.

Mu birala ebigusobozesa okukwajja amangu agamba nti mulimu bino wammanga:

1 Eby’enfuna: Omuntu omu ayinza okuba nga teyalina ssente we baayagalanira kyokka oluvannyuma n’azifuna. Bwe basisinkana tewabaawo kusika muguwa.

2 Abaana: Omukwano ogw’ekika kino bwe guba gwalimu abaana tegutera kuggweerawo ddala. Abazadde bano beesanga nga balina bingi ebibagatta ebibawaliriza n’okudding’ana.

3 Eby’obuwangwa: Abazadde beesanga nga balina okudding’ana okukola emikolo gy’obuwangwa omuli okumala ekizadde n’okukuza abaana.

4 Emikolo egy’enjawulo: Mu nsi mulimu emikolo mingi egigatta abantu. Bayinza okwesanga mu nnyimbe, ku mbaga , okwanjula oba akabaga konna ne baddamu okutabagana omukwano ne gutojjera buto.

5 Omwenge n’ebiragalalagala: Bino bikola kinene mu kutondawo embeera eggya mu muntu okutya n’okulaba ebintu byonna nga bisoboka.

6 Abantu abakumamu omuliro: Waliwo abantu abalina ebigendererwa eby’enjawulo abakola ekinene okulaba ng’omukwano ogwali guweddewo guddamu.

7 Omuntu ayinza okutambula n’akoma gy’akomye naye n’alemwa okufunayo amuwa omukwano ogumumatiza. Bw’afuna omukisa okudding’ana ne gwe yayawukana naye talonzalonza.

EBIZIBU EBIRI MU KADDANNYUMA:
Lukandwa agamba nti omukwano ogw’ekika kino gulina ebizibu bingi omuli;

1 Siriimu n’endwadde z’ekikaba endala. Lukandwa agamba nti abaagalana baba baagala omukwano gutambule nga bwe gwali mu kusooka.

2 Obwesigwa mu maka buggwaawo. Embeera eno singa eyingira mu maka etondawo obunkenke obuyinza okugobererwa obutabanguko n’amaka okusasika.

3 Abaana abazaaliddwa okufuuka ekizibu. Abaana okukulira ku mulamwa beetaaga omukwano gw’abazadde bombi.

Mu mbeera eno engeri abaana gye batafuna mukwano gumala, bakula babambaavu ne bafuuka ekizibu.

ENGERI Y’OKULWANYISAAMU EMBEERA ENO:
Lukandwa agamba nti omuntu okwewala embeera eno alina okwesigama ku bigambo bya Katonda omuli ebirabula abantu okwenda wamu n’ebyo ebiraga nga buli kintu bwe kirina ekiseera kyakyo.

Mu ngeri endala obwesigwa mpagi nkulu nnyo mu nsonga y’obufumbo. Omufumbo okwewala embeera eno kimwetaagisa okwekkiririzamu n’okwewa ekitiibwa Omufumbo era kimwetaagisa okutondawo ebbanga wakati we n’abaaliko baganzi be.

Kikakata ku buli mufumbo atayagala kwesembereza beera eno okubaako ne w’akoma ku bantu abaaliko baganzi be.

Bwe kiba kyetaagisa kuwa muntu ssente, enkola y’okusindika ssente nga ziyita mu mikutu egy’enjawulo yandibadde yeeyambisibwa nnyo okusinga kuzimuwa obutereevu, bwatyo Lukandwa bw’akkaatiriza.

OKWAWUKANA KISEERA KYA KWEZZA BUGGYA - MUKUGU
Edith Kigongo omukugu mu kubudaabuda abantu mu Kampala agamba nti abaagalana okwawukana kibayamba okwezza obuggya.

“Ebbanga omuntu ly’amala nga tali ne munne oluusi limuyamba okuwona ebiwundu omu by’aba yafuna mu mukwano bwatyo n’ayanguyirwa okuzza obuggya omukwano bw’aba afunye omukisa’.bwatyo Kigongo bw’agamba.

Wabula Kigongo agamba nti oluusi okudding’ana okw’ekika kino kubaamu ebirungi gamba ng’okukuza abaana, naddala abaagalana bwe baba baali baazaala abaana.

Kino kiyamba abaana okukula nga bafuna omukwano gw’abazadde bombi.

Ensonga ezireetera abantu okuddira be baayawukana nabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...