TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze bwe yamanya nga nnina siriimu n'andekawo

Baze bwe yamanya nga nnina siriimu n'andekawo

Added 21st October 2014

OKUTEGEERA nti nnina akawuka akaleeta siriimu gwali mwaka gwa 2000. Bwe nnagenda okunywa eddagala ku lubuto olwomukaaga, abasawo bampa amagezi okwekebeza omusaayi nsobole okumanya bwe nnyimiridde.

OKUTEGEERA nti nnina akawuka akaleeta siriimu gwali mwaka gwa 2000. Bwe nnagenda okunywa eddagala ku lubuto olwomukaaga, abasawo bampa amagezi okwekebeza omusaayi nsobole okumanya bwe nnyimiridde.

Bantegeeza nga kino bwe kyali kijja okutaasa omwana gwe nnali ng’enda okuzaala singa nsangibwa n’obulwadde bwa siriimu.

Nze Hasfa Nantongo 39, mbeera Katwe II. Ebyava mu musaayi byalaga nga bwe nnalina akawuka akaleeta siriimu.

Nnasooka ne ntya nnyo kyokka engeri abasawo gye bankwatamu yang’umya ne nzira eka nga sikyalimu kutya kwonna.

Wabula nnasalawo okusirikira embeera eno lwa nsonga nti mu kiseera kino twalinawo obutakkaanya ne taata w’abaana. Okumutegeeza nga bwe nnalina obulwadde kyali kiyinza okwongera okusajjula ensonga.

Omwana bwe yaweza emyaka ebiri, nnatuuza munnange ne mmubikkulira ekyama kino. Yatya nnyo era n’atandika okwecanga. Mu bbanga ttono eryaddirira y’andekawo n’atambulamu.

Okuva olwo newankubadde atuweereza ku buyambi n’abaana bange, okutwalira awamu tebutumala.

Eno y’ensonga lwaki nfuba ng’omukazi okubaako emirimu emirala gye nkola okubaawo.
Nneenyigira mu kuluka ebiruke wamu n’okuyambako munnange omu okwera enguudo mu Kampala.
Ekirungi yandeka mu maka era sipangisa.

Mu 2004 nnatandika eddagala lya ARVS erinnyambye ennyo okuntuusa mu kiseera kino nga nkyalina obulamu.

Wabula okuva lwe nnafuna obulwadde buno endwadde endala nnyingi zannumba. Mu zino mulimu okufuukuuka olususu, puleesa n’omutwe.

Okufuna eddagala erijjanjaba obulwadde buno bwonna bwe buzibu bwe nsinga okusanga mu kiseera kino.  Ebiseera bingi nneetaaga ssente nnyingi okusobola okwejjanjaba n’okwerabirira mu ngeri ey’enjawulo.

Eno y’ensonga lwaki bwe wabaayo omuntu yenna asobola okunkwasizaako asobola okunfunira ku ssimu: 0785977337.

Baze bwe yamanya nga nnina siriimu n’andekawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...