
Mwana wange okuyimba oluyimba lw’eggwanga si tteeka. Abakyala abamu tebayimba kubanga embeera tebasobozesa.
Omukazi alina ensonyi nga tayagala bantu kumanya nti yeegatta yeewala okuyimba. Ye kambuuze gwe oyimba? Anti okuyimba si kwa bakyala bokka wabula n’abasajja.
Ekirala mwana wange abakyala bayimba singa bafuna essanyu. Naye singa tafuna ssanyu talaba lwaki ayimba.
Tukimanyi nti abakyala abamu bayimba naye nga bakikola kusanyusa basajja, kubanga balina endowooza nti omusajja byakola bisanyusa naye omukyala nga talina ssanyu mu kwegatta asobola obutayimba.
Mukazi wange lwaki tayimba?