
NZE Brenda Namayanja. Nnina emyaka 18. Mbeera Bukwenda Busawula.
Mbadde mu bufumbo emyaka esatu era nnina omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi mwenda.
Okufumbirwa nnadduka ku ssomero nga ndi mu S3 oluvannyuma lw’okufuna omulenzi eyali andidde obwongo. Omulenzi ono yansuubiza ensi n’eggulu era n’annemya okusoma.
Nnalaba ng’okusoma kummenyera bwereere kwe kudduka ku ssomero ng’ende mbeere n’olulenzi lwange.
Kino kyanyiiza nnyo bazadde bange bwe baakitegeera nti ebyokusoma mbivuddeko nneefumbizza era nga tebakyayagala kundabako.
Nnasalawo okubeera n’omwagalwa wange Silver era mu kusooka ebintu byali birungi nga sijjula, olaba ne famire yange nnali sikyagifaako, ng’omulenzi yafuuka famire yange era nga ye buli kimu gyendi.
Wabula olwafuna olubuto ensi n’entabukira anti omulenzi yanneefuulira. Yatandika okunywa omwenge n’okunkuba kumpi buli lunaku. Kuno yassaako okungobaganya nzire ewaffe kyokka nga bakadde bange tebakyayagala kundabako.
Nnejjusa olunaku lwe nnasisinkana omuvubuka ono mu butuufu sitaani yankema! Abavubuka bangi abaankwananga naye nga mbagaana anti nga nninda atuukiridde (Mr. Right). Bannange omuntu gwe nnalaba ng’ow’obuvunaanyizibwa andabizza ennaku etalojjeka! Mukama yannyamba ne nzaala omwana wange.
Omuvubuka ono okumanya talina mpisa, bwe yalabye angoba nga sigenda n’atandika obutampa ssente za mmere n’okumpaanira abakazi b’akwana nga bwe bansinga okumanya omukwano era nti simusaana. Olumu baganzi be abaleeta mu nnyumba ne beesa empiki nga mpulira, anti nsula wansi!
Bw’alabye ankoze bino byonna nga sivaawo kwe kusalawo okunzigyako omwana wange abadde abampa essanyu era gye yamukweka sibamanyi bulungi era sirina we ntandikira kumunoonya kyokka bwe namumusabye yasazeewo kunkuba emiggo egyandeeseko ebisago ku mutwe.
Nsaba Silver onzirize omwana wange n’abazadde mmunsonyiwe, saamanya nti biriba bwe biti.
Nkubirizza abawala mwenna okunywerera ku kusoma kuba eby’okuganza abalenzi n’okwefumbiza temuli kalungi.
Eyannemya okusoma anneefuulidde