TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By'olina okukola munno bw'akumma omukwano

By'olina okukola munno bw'akumma omukwano

Added 11th November 2014

ENSONGA z’ekisenge zirimu ebintu bingi ebikosa omukwano wamu n’ebyo ebiguyamba okugenda obukwakku.

ENSONGA z’ekisenge zirimu ebintu bingi ebikosa omukwano wamu n’ebyo ebiguyamba okugenda obukwakku. 

Ekigwo ky’abaagalana kye kimu ku birungo ebikulu mu bufumbo bye tutayinza kubuusa maaso kuba kikola nga nnamuziga okutambulira ensonga z’obufumbo.

EDDIINI BY’EGAMBA KU KWEGATTA:

Okumanya ensonga y’okwegatta mu bafumbo nkulu, ne Bayibuli egyogerako mu 1Abakkolinso 7:4-5 awagamba nti; “Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we; Era n’omusajja bwatyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we. Temummang’ananga...”

Ate Kuraani: Surat Bakara (223) Allah agamba nti, “Bakyala bammwe nnimiro ze mulina okwegazaanyizaamu n’olwekyo mukyalirenga ennimiro zammwe buli lwe muba mwagadde mu ngeri ekkirizibwa mu mateeka. Mutye Allah era mukimanye nti mujja kumusisinkana...”

Wabula wadde guli gutyo, abafumbo bangi ensangi zino abeesanga ng’omusajja ayinza okuba ayagala okukiika embuga naye nga munne amutunuulira kyamuli!

Kino era oluusi kiba ne ku basajja nga mukazi we awulira ayagala abeeko w’amutakula naye ng’omusajja ssi by’aliko.

Embeera eno oluusi ereetawo obusambattuko mu maka. Omu aba ayagala okwegatta ayinza okulowooza nti osanga munne aliko awalala w’ayitidde, sso ng’oluusi tekiba kituufu.

Dr.Abdallah Muhoofa omukugu mu mbeera z’abakyala akolera e Mulago agamba nti abakyala bafuna obwagazi wiiki bbiri nga baakava mu nsonga zaabwe. Kino kiva  ku busimu obukyala obuyitibwa estrogen okweyongera mu mubiri.

Wabula ayongerako nti bo abasajja tebalina kiseera kiri awo mwe bafunira bwagazi wabula bw’asanyusibwa olw’embeera eriwo ng’acaaginga.

Muhoofa akkaatiriza nti okubulwa obwagazi kisinga kuva ku bwongo. 

“Okwegatta kufugibwa bwongo y’ensonga lwaki omuntu okufuna obwagazi kimwetaagisa obwongo bwe okuba obukkakkamu.” 

Agattako nti obukoowu, situleesi n’embeera endala ezikosa obwongo zimalawo obwagazi olw’obwongo okulemwa okulowooza ku nsonga eno.

Obuzibu obuli mu kukaka omukwano

Oluusi abafumbo beesanga mu mbeera y’okukakibwa omukwano singa omu ku bo aba mu mbeera eyagala nga munne tayagala. Ku nsonga eno Muhofa agamba nti kino kivaako obulumi wamu n’okutulugunyizibwa kw’obwongo ekiyinza okutondawo embeera y’okwetamwa okwegatta ensonga eyinza okukosa obufumbo.

Abafumbo basobola batya okulwanyisa embeera eno?

Muhoofa awa abafumbo amagezi ensonga z’omukwano obutazifuula za kkatala. Agamba nti abafumbo bandibadde ensonga z’ekisenge bazikola lumu na lumu okusinga okuzidding’ana buli lukya ekiyinza okuleetawo okuzeetamwa.

Ate Patrick Lukandwa omukugu mu kubudaabuda abantu akolera mu Educational consultancy and Applied Counseling Services e Wandegeya agamba nti omuntu okufuna obwagazi bw’okwegatta kisinziira ku bintu ebiwerako.

Engeri gy’ateekedwatekeddwaamu.

Omuntu yenna mu mukwano yeetaaga okutegekebwa mu birowoozo asobole okufuna obwagazi bw’ensonga eno. Okupakukira ensonga eno kiteeka omu ku baagalana mu mbeera y’obutasumulukuka.

Embeera emwetoolodde.

Embeera eyeetooledde ekifo abafumbo we basindira omukwano nayo nkulu. Okugeza singa muba mu nnyumba nga mulimu abantu abalala muyinza okubulwa obwagazi.

Obulwadde obutali bumu obukwata omubiri bukosa embeera y’obwagazi mu ngeri ezitali zimu. Edwadde nga ssukaali, puleesa, kookolo n’endwadde z’ekikaba nnyingi ezibuza obwagazi bw’okwegatta.

Okukuluusanyizibwa kw’obwongo.

Ebizibu eby’enjawulo okutambulira obulamu bw’abantu obwa bulijjo birina engeri gye bikosaamu ensonga z’ekisenge. Omuntu alina ebizibu omuli ebyekuusa ku nsimbi n’ebirala biremesa omuntu okufuna obwagazi.

Omwenge n’ebiragalalagala nabyo biyinza okumala mu munne akaagala. Bino bikosa omuntu mu ngeri ezitali zimu naddala olw’engeri gye biwunyamu. 

Engeri abafumbo gye bayinza okweyambamu:

Lukandwa agamba nti abafumbo balina okutuula awamu okusalira embeera eno amagezi obufumbo okusobola okugenda mu maaso.Ebimu ku bye balina okukola mulimu;

1 Okwenoonya. Eno nsonga nkulu mu mukwano kuba eyamba okufuna obwagazi. Mukozese ebitundu by’omubiri byonna nga mwenoonya, era munno muwe ebbeetu akunoonye mu ngeri yonna esoboka.

2 Okwogeraganya. Mutuule mwogere ku bizibu ebiyinza okuleetawo embeera eno mu mukwano.

3 Temutondawo bbanga wakati wammwe. Ne bw’oba tolina bwagazi munno tomwesamba n’otuuka okumwebalama.

4 Okuyigang’ana. Buli mufumbo kimukakatako okuyiga munne n’okumanya embeera ze naddala ezeekuusa ku mukwano. Kino kimuyamba okumanya ebimusanyusa n’ebifo byonna ebimuteeka mu mmuudu.

 

BannaDdiini kye bagamba: 

Msgr.Wynand Katende omwogezi w’essaza ekkulu ery’e Kampala agamba nti Klezia teyingira mu bisenge bya bantu naye ewa abafumbo amagezi okukkaanya mu maka gaabwe n’okuyiga obugumiikiriza.

Ate ye Rev. Muwonge Nsinsi ow’Obusumba bw’e Namasuba agamba nti kiba kirungi abafumbo mu mbeera ng’eno okutuula awamu ne bagyogerako mu mukwano n’okugisalira amangu amagezi nga tennasajjuka.

Agamba nti omuntu akwatibwako kirungi n’atuuza munne n’amunnyonnyola mu lulimi lw’awulira obulungi era n’oyo gwe bannyonyodde n’awuliriza. 

Ate Sheikh Asadu  Galabuzi Tamusuza ow’e Kibibi Butambala agamba nti okusinziira ku njigiriza ya Kuraani, abafumbo balina okukuzesa obukodyo obusikiriza bannaabwe mu mukwano nga tebannayingira nsiike ya mukwano. Agamba nti kino kiwa omuntu obudde okweteekerateekera ensonga eno.

Wabula ayongerako nti mu bufumbo si kirungi omu kwekwasa busongasonga n’alemesa munne ensonga z’omukwano.

“Bw’ogaana okusanyusa munno mu ngeri eno oba omwagaliza kukwata bisolo oba kukwata bantu ba mu kkubo. 

Kirungi abafumbo okusanyusagana awatali kwekwasa nsonga yonna’,bwatyo Tamusuza bw’agamba.

Wabula akkaatiriza nti Obusiraamu tebukkiriza kukaka munno mukwano.  

By’olina okukola munno bw’akumma omukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...