TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okujjanjaba obulwadde bwe sitegeera kyammalako ssente

Okujjanjaba obulwadde bwe sitegeera kyammalako ssente

Added 2nd December 2014

Emyaka esatu egiyise embeera z’obulamu bwange zantabula. Nnafuna olusujjasujja olwolutentezi olwammalako emirembe.

NNAMALA ebbanga nga nkozesa ssente mu kwejjanjaba obulwadde ne bugaana okuwona ne kinkuba obwavu. Nze Teopisita Namuleme, 45 mbeera Lwadda, Matugga mu Wakiso.

Emyaka esatu egiyise embeera z’obulamu bwange zantabula. Nnafuna olusujjasujja olwolutentezi olwammalako emirembe.

Buli kawungeezi nga mbeera mu kutintima n’okwekyawa. Nnagendako mu malwaliro mangi gye nnafuniranga obujjanjabi obutali bumu obwantwalako ssente zange nnyingi kyokka ne nsigala mu mbeera y’emu.

Ekiseera kyatuuka essuubi ne linzigwaamu ne mbirekera Katonda.

Mu kiseera kino, waliwo omukyala omu mulirwana wange eyalina akawuka eyamanya ku mbeera zange. Yantuukirira n’ampa amagezi okuggyibwako omusaayi ntegeere ekintawaanya.

Nnasooka ne nneekebereza ku kyalo ne bazuula nti nnina akawuka. Okukasa nneeyongerayo mu ddwaaliro e Mulago nayo gye bankakasiza nga bwe kyali ekituufu. Okudda mu kwekubagiza n’okukaaba nnalaba nga byali tebikyannyamba.

Nnakkiriza okusomesebwa n’okubudaabudibwa kw’abasawo okusobola okuba nga ndi mulamu. Amangu ddala banneekebejja ne bazuula nti newankubadde nnali nnina akawuka akaleeta siriimu, abasirikale bange abomubiri baali bakyali ba maanyi.

Eno y’ensonga lwaki banteeka ku septrine nga bwe banneekebejja. Okuva olwo obulamu bwange bwakomawo era siddangamu kutawaanyizibwa musujja ogwali gunsibyeeko akanyaaga.

Okuva olwo ndi mmemba omukuukuutivu mu kibiina kya TASO era nnina essuubi mu bulamu bwange.
Ekinnyambye okutambulira mu mbeera eno, kwe kweyisa mu ngeri y’obuvunaanyizibwa mu nsonga z’obufumbo, okulyaemmere egasa omubiri n’okwewala ebirowoozo.

Kye nsobola kyokka okutegeeza abantu bonna, bwe butatya kwekebeza musaayi okusobola okumanya bwebayimiridde mu mbeera z’obulamu bwabwe.

Omuntu bw’amanya obulwadde buno nga bukyali kimuyamba okutandika amangu eddagala kubanga weeriri.

Okujjanjaba obulwadde bwe sitegeera kyammalako ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu