TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja eyansigula mu bufumbo anneefuulidde

Omusajja eyansigula mu bufumbo anneefuulidde

Added 3rd December 2014

KATONDA singa kibadde kisoboka yandibadde atuyamba ffe abakazi n’atwoleka emitima gy’abasajja abajja okutwonoonera obufumbo bwaffe. Nze kye nnatuukako nsaba Katonda aleme kukituusa ku mukazi mulala. Nze Fiona Nalunkuma 25,

KATONDA singa kibadde kisoboka yandibadde atuyamba ffe abakazi n’atwoleka emitima gy’abasajja abajja okutwonoonera obufumbo bwaffe.

Nze kye nnatuukako nsaba Katonda aleme kukituusa ku mukazi mulala. Nze Fiona Nalunkuma 25,
mbeera Nalubabwe mu disitulikiti y’e Mukono.

Nnali mukyala mufumbo era baze buli kimu yali akimpa ng’obufumbo bwaffe butambula bulungi.
Baze awaka yabeerangawo ekiseera kitono ng’ebiseera ebisinga abeera ku mirimu gye.

Mu 2013 nnasanga omusomesa eyali abeera okumpi n’ekyalo kyaffe n’atandika okumpaana nga
kw’atadde okunsonseka obugambo bw’omukwano.

Ebigambo bye byantengula omutima ne nzikiriza okumuganza, naye kati bino byonna
mbyevuma. Omukwano gwaffe gwaliwo mu bubba era nga nfuba nnyo baze obutamanya, naye era nga
bw’omanyi nti ekiwoomereze kizaala enkenku, lumu omusajja ono yansaba tugendeko ewuwe
era bwe twayingira mu kisenge yankakasa nga bw’atalina mukazi.

Lumu yangamba nfuneyo akadde nnebbe ewange nsiibeko ewuwe kubanga yali agenda
kukuuma bigezo ate nga tayagala bantu bamanye nti taliiwo.

Kino nnakikola kuba yali amaze okunkakasa nga bw’atalina mukyala ng’angumizza nti baze ne
bw’angoba mu bufumbo agenda kumpasa nfuuke mukyala we omujjuvu.

Waayita akabanga katono ne nfuna olubuto lw’omusomesa ono era ne mmutegeeza nga bwendi
olubuto lwe. Yakisanyukira nnyo n’ankakasa nti tajja kundekerera.

Wabula engeri gye nnali mu maka g’omusajja naye nnamugamba nti ndi lubuto. Wabula ekyanswaza kwe kuzaala nga baze amanyi olubuto lukyabuzaayo ebbanga ddene era n’agaana okutuuma omwana
erinnya.

Nnasalawo omwana okumutwala ewa taata we omutuufu era bwe yamulabako yasanyuka nnyo
n’amubbulamu amannya ge. Naye lumu tuba twebase mu nnyumba, mukazi we n’ajja, era olwandabako n’annyambalira n’ankuba mizibu.

Bwe nnamwetakkuluzaako ne nkwata omwana wange era n’engoye ssaazijjukira. Nnasibira wa mukwano gwange n’ampa engoye kyokka nga nzenna nzijudde ebinuubule.

Nnalowooza ekyokukola ne kinnema. Okudda ewa baze mu bufumbo nnakitya olw’okuswala, kwe kusalawo okudda ewaffe ntobe n’omwana wange.

Wabula lumu omwana yagwirwa obulwadde ne ntambula mu malwaliro wabula nga buteerere.
Nnakubira kitaawe ne mmubuulira ebikwata ku mwana kyokka yampeereza kifaananyi kye n’ang’amba nti kye mba mmulaga nti ajja kuwona.

Yagattako nti ne bw’anaaba afudde nja kumunoonyeza ku mukwano kifaananyi ekyo ntwale omulambo ewaabwe e Busoga. Bannange mpulira nsobeddwa kuba omusomesa ono yansigula mu bufumbo bwange ate kati naye anneefuulidde kuba yategeeza maama wange ku ssimu nti nnina ekisiraani.

N’agattako nti ku ssomero gye yali akola baamugoba yo, ate tasobola kumpasa kuba ssaasoma.
Yamugamba nti yanjagalako bya kiseera ate ne we yali abeera yavaawo kati simanyi gyali.

Nsaba abasomi ba Bukedde bampe ku magezi oba obuyambi nga bakozesa essimu 0704192142, nsobole okulabirira omwana wange.

SSENGA: Mwanawange wakola nsobi okukola obwenzi, ate ng’oli mu maka g’omusajja. Abasajja bangi bakwana abakazi abafumbo nga babalimbye okubawasa singa baba bavudde mu maka ago, naye nga biba bya bulimba.

Omusajja akukwana ng’amanyi nti oli mufumbo tosuubira nti akubalamu amagezi, era obufumbo bwo bwe bufa nga naye akuleka. Ky’olina okukola kusala amagezi otandike okwekolerera.

Omusajja eyansigula mu bufumbo anneefuulidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...