TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eddagala lya ARVS lye lyanziza engulu

Eddagala lya ARVS lye lyanziza engulu

Added 16th December 2014

Mu 2004 omusajja omu muliraanwa wange ku kyalo yajja okundaba era n’ansanga mu mbeera eno. Ono ye yampa amagezi g’okugenda mu ddwaaliro banneekebejja okuzuula ekyali kivaako obuzibu.

OMWAKA gwa 2003 saagweyagaliramu olw’embeera z’obulamu bwange okufuna enkyukakyuka.
Olusujjasujja olwannumbanga entakera lwammalako emirembe ne ntuuka okwekyawa.

Nze Christine Nyakekyo 50, mbeera Bugabo,Kikyusa mu Luweero. Embeera eno yanneeraliikiriza ebitagambika olw’obutamanya kwe yali eva.

Mu kiseera kino kyennyini, obulwadde bwankuba ku ndiri ne ntuuka ku ssa ly’okufa.

Mu 2004 omusajja omu muliraanwa wange ku kyalo yajja okundaba era n’ansanga mu mbeera eno. Ono ye yampa amagezi g’okugenda mu ddwaaliro banneekebejja okuzuula ekyali kivaako obuzibu.

Bantwala mu ddwaaliro e Ntebe gye beekebejjera omusaayi gwange. Oluvannyuma lwa wiiki twaddayo okunona ebyali bivudde mu kukeberebwa era ne kizuulibwa nga nnalina akawuka akaleeta siriimu.
Nnatya nnyo era ne ndaba nga nnali sikyalina mugaso mu bulamu bwa nsi eno.

Wabula okusinziira ku bukugu abasawo bwe baakozesa okumbudaabuda, nnavaawo nga ng’umye era nga nzikirizza okutambula n’obulwadde.

Mu mwaka ogwo gwennyini abasawo banteeka ku ddagala lya ARVS.

Okuva lwe nnatandika eddagala, obulamu bwatandika okudda. Omuntu eyali aweddeko ennyama nnatandika okulabika obulungi. Omusujja ogwali gunnuma nga teguwona okuva olwo siddangamu kuguwulira.

Eno y’ensonga lwaki n’emirimu gyange egy’okulima emmere nga bwe ngitunda gitambula bulungi.Okutwalira awamu mu kiseera kino ndwawo okulowooza ku bulwadde buno kubanga sikyalina kabonero ka bulwadde konna.

Mu mbeera y’emu nange nnina abantu abawerakoabaali beetya be nkutte ku mukono okubatuusa mu basawo ne basobola okumanya bwe bayimiridde ne basobola n’okutandika obujjajjabi. Bano nabo ensangi zino balina essuubi.

Eddagala lya ARVS lye lyanziza engulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...