TOP

Gwe nakyawa annemeddeko

Added 5th January 2015

OKUSINZIIRA ku bye mpiseemu mu by'omukwano nsazeewo ngira mbyesonyiwa. Nze Charity Yvonne. Mbeera mu kibuga ky'e Kyotera.

OKUSINZIIRA ku bye mpiseemu mu by'omukwano nsazeewo ngira mbyesonyiwa. Nze Charity Yvonne. Mbeera mu kibuga ky'e Kyotera.

Nnalina omuvubuka ayitibwa Herbert. Yali mulungi era n'andaga nti anjagala.

Yali siriyaasi nnyo n'atuuka n'okummatiza nga bw'atalina muntu yenna.

Ekyaddirira kwali kumukwasa bisumuluzo bya mutima gwange.

Twatandika okupepeya ng'abaagalana muli nange ne nneebaza Katonda olw'okumpa omusajja amanyi omukwano.

Wabula abasajja abo b'olaba ebigambo byabwe obyesiganga kitono. Mu bbanga lya myezi esatu gyokka nga tuli mu mukwano gwaffe nnafuna olubuto ekyayongera ggiya mu mukwano gwaffe.

Omukwano tegwawangaala nnyo nga bwe nnali njagala era munnange ono ye yavaako obuzibu.

Yasalawo okukukuta n'abakazi ng'ayita ku ssimu.

Olunaku olumu nnawulira ng'ayogera ku ssimu n'omuntu mu mukwano omungi.Nnabaako awantu we nneekweka ne nsobola okulumika emboozi ye.

Awatali kubuusabuusa yali ayogera na mukazi muganzi we. Bwe nnagezaako ennyo okumubuuza omuntu gwe yali ayogera naye ensonyi yayagala kuzifuula busungu. Nze ndi mukazi wa buggya bungi era atakkiriza muntu kunsimuulizaako ttoomi.

Okusinziira ku kino kye yakola, nnasalawo okumuviira ne ntandika obulamu obupya.

Ekirungi nnina omulimu gwange omuva ensimbi ezinnyimirizaawo n'omwana wange y'ensonga lwaki nnagaana okukkiriza omuntu okumpisa nga bw'ayagala.

Wabula okumanya abasajja bazibu, ennaku zino asiiba ankubira essimu ng'ayagala muddiremu. Ekituufu kiri nti mu kiseera kino sinnalowooza ku kya kudda mu mukwano kubanga abasajja tebamanyi kye baagala.

Gwe nakyawa annemeddeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...