TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyangobesa ewaffe yeegaanyi bbebi wange

Eyangobesa ewaffe yeegaanyi bbebi wange

Added 10th April 2015

BANNANGE nsobeddwa eka ne mu kibira! Omuvubuka gwe nnayagala ennyo n’atuuka n’okungobesa awaka oluvannyuma lw’okunfunyisa olubuto anneefuulidde. Nze Julie Kisakye.

 BANNANGE nsobeddwa eka ne mu kibira! Omuvubuka gwe nnayagala ennyo n’atuuka n’okungobesa awaka oluvannyuma lw’okunfunyisa olubuto anneefuulidde. Nze Julie Kisakye.

Mbeera Nabweru, omukyala ow’ekisa gye yampangisiriza akazigo oluvannyuma lw’okunsanga ku kkubo nga sirina wa kusula n’omwana wange ow’emyezi esatu. Mu kiseera ekyo yali wa mwezi gumu gwokka.

Mu 2007, nayagalana ne Sulaiman. Mu kiseera ekyo nnali ntudde S4 ate nga ye munnange atudde S6.

Nnamwagala nnyo kubanga ebbanga lino lyonna nga tukyankalana ne tumala akaseera oluusi nga kivudde ku kiseera ky’amaze ng’agenze okusoma, obutakkaanya n’ebbanga lye yamala ng’agenze okukolera ewala.

Bwe yakomawo twaddamu ne tukwatagana kyokka nga takkiriza kuntwala wuwe ng’antegeeza nti akyatereeza bintu asobole okuntwala nga byonna biwedde.

Yankubiranga essimu ne tusisinkana olwo ne tugenda mu loogi. Omanyi nnali mbeera wa bazadde bange e Kawempe.

Wakati mu mukwano guno nafuna olubuto kyokka munnange olwamutegeeza yatabuka nga takyayagala na kuntunulako era nga n’essimu zange tazikwata.

Mu biseera biri nga tukyali mu mukwano, yantwalako ewa nnyina era bwe nnalaba ng’embeera ensobedde kuba bazadde bange bangoba olw’okufunira olubuto ku luggya, nagenda ewa nnyina eyasooka okumpisa obulungi. Kyokka waayita akaseera katono n’atandika okuntulugunya n’okumpa ebiragala nzigyemu olubuto.

Eno naddukayo era twayawukana bubi nnyo ng’anvumye, annangidde n’okunswazaswaza.

Nagenda ewa ssengange naye eyantegeeza nti agenda kunkuuma okutuusa nga mmaze okuzaala kubanga naye alina abantu bangi awaka tasobola kungattako n’omwana.

Oluvannyuma lw’omwezi nga mmaze okuzaala ssenga yantegeeza okunoonya gye ng’enda era wano omukyala eyampangisiriza akazigo e Nabweru we yansangira ku luguudo n’omwana wange nga binsobedde.

Ngezezzaako okumunoonya n’okumukubira ssimu kyokka anneekweka ate lwe mulabye antegeeza nti omwana si wuwe.

Bazadde bange nabo bagezezzaako okumukubira kyokka n’akwata masimu gaabwe ate nga ne bwe ngenda ku ddwaaliro gy’akola e Nansana bambuzaabuza mbu afulumye ate bwe mbasaba okundagirira ewuwe basawo banne bang’amba mbu omukwano gwabwe gujja kufa ssinga amanga nti ye yandagiridde.

Mu kiseera kino sikyalina kyakulya wadde okuwa omwana nga n’ennyumba mwe nsula ebulako omwezi gumu gwokka ez’obupangisa zigweko.

Njagala Sulaiman akkirize tugende ku musaayi bw’aba agamba nti omwana si wuwe kyokka singa kikakasibwa nti wuwe njagala atwale obuvunaanyizibwa bwonna.

Mu ngeri y’emu nsaba alina obuyambi bwonna oba mulimu gwe nsobola okukola annyambe era nga ndi ku 0706044342.

Eyangobesa ewaffe yeegaanyi bbebi wange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...