TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnafuna olubuto ne bankubako ekibaati

Nnafuna olubuto ne bankubako ekibaati

Added 13th April 2015

NZE Margaret Atulinda nga nnina emyaka 26, mbeera Boston Lukuli Zooni IV. Mu 2004, nasisinkana omwami wange ku Lake Albert nga nkyabeera mu disitulikiti y’e Bundibugyo.

NZE Margaret Atulinda nga nnina emyaka 26, mbeera Boston Lukuli Zooni IV.

Mu 2004, nasisinkana omwami wange ku Lake Albert nga nkyabeera mu disitulikiti y’e Bundibugyo.

Twasooka ne tweyagala mu mukwano omuzito era nga kino twakikolera ebbanga eryawerako.

Wadde mu kiseera ekyo nnali nkyali muto mu myaka ne mu birowoozo naye omwami wange yanfunira omulimu nga nkola mu dduuka erisuubuza.

Ekyaleeta obuzibu nagenda ne nfuna olubuto ekyakyusa omusajja wange n’atandika okunnimba. 

Lumu yampeereza muganda we eyantegeeza nti baze yali mu kkomera bamusibye. Wabula lwali olwo ne mmugwikiriza n’antegeeza nga mukyala we omukulu bwe yali yazze n’omwana.

Nnagenda okwetegereza ng’omusajja alabika yali ambuzaabuza kwe kusalawo okugenda ewuwe gye nnasanga omuwala ne mmubuuza ani bba n’antegeeza nti ye mwami wange.

Era ng’obufumbo baakabumalamu ennaku ssatu nga yamuggya mu bbaala.

Kyokka omwami ye agamba nti omuwala ono mulamu we era yazze kunona buyambi.

Omuwala yatandika okunnumba ku mulimu gwange nga bw’anvuma ssaako n’okunnangira nga bwe nnali malaaya nga kuno kwe yateeka n’okugamba nti omwana si wa baze, ekyaleetera omusajja okwagala okuntwala mu kyalo kuba omukazi yali anfuukidde ekizibu.

Nnatuuka n’okuzaala ng’omusajja tampa buyambi era n’omwana atuuse n’okukula nga nze mulabirira kuba kati alina emyaka musanvu talabanga ku kitaawe.

Nsoma bya kutunga ngoye. Naye bwe wabaawo omuntu ayinza okukwata ku mukono ayinza okuyita ku nnamba 0777349087 oba 0705222579.

Nnafuna olubuto ne bankubako ekibaati

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...