TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obulwadde bwongedde okutugatta ne baze

Obulwadde bwongedde okutugatta ne baze

Added 14th April 2015

Ebyava mu kukeberebwa byali bizibu nnyo kubanga newankubadde abaana baffe ababiri be twalina mu kiseera ekyo baali balamu, nze nnasangibwa nga nnina akawuka akaleeta siriimu.

MU mwaka gwa 2012, ekibiina ekimu eky’obwannakyewa kyategeka okukebera abazadde mu ssomero ly’abaana baffe akawuka ka siriimu.

Enteekateeka eno, omwami yagaana okugyetaabamu bwatyo n’asindikayo nze. Olw’okubanga nnali nneekakasa bwe nyimiridde, ssaakaluubirirwa bwentyo ne ng’enda.

Nze Annet Nalugo 36, mbeera Mmende mu Wakiso.

Ebyava mu kukeberebwa byali bizibu nnyo kubanga newankubadde abaana baffe ababiri be twalina mu kiseera ekyo baali balamu, nze nnasangibwa nga nnina akawuka akaleeta siriimu.

Kyali kiseera kizibu nnyo mu bulamu bwange kyokka okubudaabudibwa kwe nnaweebwa kwannyamba okuguma ne nzira eka nga mmanyi nti obulamu bulina okugenda mu maaso.

Taata w’abaana nnamutegeeza ku byali biguddewo era n’awotoka nnyo. Kye yasinga okutya, yalowooza nti embeera eno yali egenda kumpaliriza okumuleka ng’ende ntandike obulamu obupya.

Okuguma yalaba ng’eby’okunoba si bye nnaliko. Wabula era eky’okwekebeza yasooka n’akitya okumala ebbanga okutuusa lwe yalwala omusujja ne mmuwerekerako mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi era ne muwaliriza okukeberebwa. Mu ngeri y’emu naye yasangibwa n’akawuka kano.

Abasawo baamuyitiramu mu mateeka amakulu agasobozesa omuntu okutambula n’obulwadde buno nga mulamu. Ekirungi yagawuliriza era okuva olwo kwe tutambuliza obulamu.

Eddagala tulimira mu budde nga tuli wamu nga buli omu bw’ajjukiza munne, eby’okuganza ebbali twabikkiriziganyaako okubiviirako ddala wamu n’okwerabirira mu ngeri ennungi.

N’omwana waffe omukulu kati ow’emyaka 13 twamutegeeza ku mbeera gye tulimu oluvannyuma lw’okutubuuzanga ebibuuzo ebitumizisa eddagala buli bbanga nga tetuli balwadde.

Okumanya embeera yaffe era yatuyamba okuzaala abaana be tuzaalidde mu bulwadde nga balamu.

Ekizibu kyokka kye tusanga y’embeera y’obwavu.  Tulima n’okulundalunda naye nga tebitumala kutubeezaawo olw’embeera y’ettaka etali nnungi.

Obulwadde bwongedde okutugatta ne baze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nasser Ntege Ssebaggala ng’alaga omumyuka wa ssentebe wa NRM, Moses Kigongo akabonero k’obuwanguzi, wabula abaali bamuvuganya mu kiseera ekyo baakitaputa nti alaga P2 ekibiina mwe yakoma okusoma. Byaliwo mu 1998.

Ebigambo bya Seya ebinaamuj...

Bino bye bimu ku bigambo ebikyamujjukirwako:

Sebaggala ng’annyonnyola.

Seya bye yalese abuulidde B...

NASSER Ntege Sebaggala bwe yabadde tannaweebwa kitanda mu ddwaaliro gye yafiiridde yayogedde ne Bukedde. Abasasi...

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.