TOP

Omusajja mukolere ki?

Added 30th April 2015

NDI mukyala mulungi ddala naye ndi nnamba bbiri naye kinnuma. Ssenga nkole ntya?

NDI mukyala mulungi ddala naye ndi nnamba bbiri naye kinnuma. Ssenga omwami wange si Musiraamu.

Bwe nnali mufuna saamanya nti mufumbo nakitegeera mmaze okuzaala baana basatu era nga n’okwanjula kuwedde. Mukyala mukulu yali abeera bweru naye kati yakomawo.

Ssenga nkole ntya?

Nakawuki e Nantabulirirwa

Mwana wange walaba nnyo omwami ono okukulimba kubanga obulimba bwe buti busobola okuleeta obutemu. Kati watya nga mukyala mukulu akitutte bubi n’akukola obubi? Mwana wange okufumba ne mukazi munno si kyangu.

Ekibi abasajja bangi balowooza nti kyangu era ffe abakyala tulina okukigumira. Mwana wange okusookera ddala oba oyagala omusajja ono, olina okukkiriza nti oli mukyala nnamba bbiri.

Sigaanyi waliyo abasajja abamanyi okulabirira abakyala baabwe era ng’oluusi kizibu n’okumanya nti muli bangi. Kale mwana wange omusajja bw’aba alina embeera ezo ennungi ng’akulaga omukwano ate nga tolina buzibu bw’amaanyi mu maka go gumiikiriza.

Ekirala mwana wange ozadde ate si mwana omu wabula abaana basatu. Lwaki tokuza baana bo? Singa onoba onoosobola okubalabirira wekka? Naye bw’oba owulira obuzito okubeera nnamba bbiri oli wa ddembe omwesonyiwa. Nkubira ne ku ssimu 0772458823 twogere.

Omusajja mukolere ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...