TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja okudda awaka 'leeti' kiraga omukwano oguserebye

Omusajja okudda awaka 'leeti' kiraga omukwano oguserebye

Added 5th May 2015

BW’OYITA mu bifo eby’enjawulo mu budde obw’ekiro omuli ebisanyukirwamu, mu bbaala mubirabo by’emmere n’ebirala osangayo abasajja abawerako nga n’abamu balina empeta ku ngalo ekiraga nti bafumbo, wabula nga balinga abayisa obudde balyoke badde awaka.


BW’OYITA mu bifo eby’enjawulo mu budde obw’ekiro omuli ebisanyukirwamu, mu bbaala mu
birabo by’emmere n’ebirala osangayo abasajja abawerako nga n’abamu balina empeta ku ngalo ekiraga nti bafumbo, wabula nga balinga abayisa obudde balyoke badde awaka.

Mu mizannyo nga ‘puulu’, ludo, omupiira, omweso n’emirala abasajja ba leero bagikozesa nnyo
okutwaliriza obudde batuuke okudda eka ng’obudde bugenderedde.

Waliwo abeekwasa jjaamu ne balwa mu bifo bino nga bagamba nti gwe balinda akkakkane naye
ng’abasinga kino kiba kyekwaso.

Kino kinyiga abakazi abamu nga bagamba nti tebafuna budde bubaako na b aami baabwe awaka.

Ssaagala musajja antuulirira’

BETTY Namakula (ku kkono) ow’e Nateete agamba nti tayagala musajjja abeera waka budde buwanvu.

“Njagala omusajja atuuke awaka waakiri nga ssaawa ssatu ez’ekiro zimaze okuwera. Mu budde buno mba mmaze emirimu gyange egy’awaka nga nnaabyeko n’okwekolako obulungi.

Naye singa omusajja akomawo awaka ng’obudde bukyali, akubuza emirembe n’olemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ng’omukyala.

Mu mbeera eno atandika okukweronda n’okukubuzaako emirembe.”

LWAKI ABASAJJA BADDA KIKEEREZI AWAKA?
Esther Nakandha omukugu mu kubudaabuda abantu akolera mu Wakisa Ministries e Bakuli, Mengo agamba nti kituufu abasajja bangi abayisa obudde mu bintu eby’enjawulo olwo ne badda awaka amatumbibudde, mu mattansejjere n’abandi nga busaasaana.

Nakandha agamba nti abakazi abalina omuze gw’okweronda, okuyomba n’obutawa basajja mirembe, bawaliriza abasajja okuddayo ng’obudde bugenderedde.

Agamba nti abasajja ab’ekika kino batwaliriza obudde oluusi mu bintu ebitaliimu ne batuukiriza
enjogera egamba nti ‘eka embi ekusuza mu kinyumu’.

“Ebinyumu n’ebibinja abasajja bye babeeramu nabyo bibawa amagezi g’obutadda waka mangu. Omusajja agezaako okudda awaka mu budde bamujerega nga bw’ayingira n’enkoko bwatyo abadde asitunkana n’atuula.

Abasajja ab’ekika kino bakozesa nnyo n’akakodyo k’okusunda omwenge ng’abawendule.
Kuno kw’ogatta abasajjja abangi abanyumirwa emipiira n’emizannyo emirala egikyase
ennyo mu mabaala ensangi zino.

Obasanga banyumirwa ne batalowooza ku kya kudda waka. Mu ngeri endala obwenzi nabwo busiba nnyo abasajja ebweru. Omusajja bw’afunayo omukazi ow’ebbali, ayinza obutamuganya
kumulekawo mangu bwatyo obudde ne bumuyitako nga n’oluusi tagenderedde.

Obwavu nabwo oluusi butuusa abasajja okutya okudda awaka amangu nga beewala okubasaba kino na kiri. Ab’ekika kino basalawo okudda eka ng’abaana beebase baleme okubaako bye babasaba oluusi bye batasobola kutuukiriza.

Abasajja abamu tebaagala baana kubamalako mirembe nga babaleekaanira. Ate abasula awafunda bakaluubirizibwa nnyo okuba n’abaana mu kanyigo, kye bava basalawo okudda awaka
ng’abaana bamaze okwebaka.’’, bwatyo Nakandha bw’agamba.

Wabula ayongerako nti n’emirimu abasajja abamu gye bakola gibalemesa okudda awaka ng’obudde bukyali. Agamba nti abasajja abamu bannyuka kiro olw’emirimu gyabwe gye bakola ekiro.

Omusajja omufumbo budde ki obutuufu bw’alina okuddiramu eka?
Nakandah agamba nti omusajja akola emisana yandibadde adda awaka wakati w’essaawa 12:00 ne ssaawa 1:00 ez’akawungeezi.

Agamba nti obudde buno omusajja abukozesa okusoma embeera z’abaana be n’okubalung’amya mu nsonga ez’enjawulo ng’akwasiza wamu n’omukyala okusinga obuvunaanyizibwa bwonna okubutikka omukyala olwo ye n’akola gwa kunoonya ssente gwokka.

“Mu ngeri endala amaka g’omusajja adda awaka mu budde gazimbibwa ku musingi ogw’obwesigwa era omugumu ne gasobola okuyita mu biwonvu n’ebikko.

Buli lwe wabaawo okwesigang’ana mu maka, ensonga zonna zitambula bulungi. Empuliziganya mu maka gonna nsonga nkulu.

Mu maka ng’omusajja adda awaka mu budde gaba ku musingi mugumu kubanga bakozesa ekiseera kino nga bannyuse ne boogera ku nsonga z’amaka ez’enjawulo naddala ezo eziba zitatambula bulungi. Kino kiyamba omukwano okutojjera.

Awaka ntuukawo ku ssaawa nnya
BUULU Ssentamu (ku ddyo) ow’e Lungujja era omusuubuzi mu Kampala agamba nti ye ne mukyala we bombi bakola.

“Ekiseera ky’okunnyuka bwe kituuka, munnange yansooka okudda awaka asobole okuteekateeka
eby’awaka omuli okufumba, okugolola n’emirimu emirala.

Nze ng’omusajja nneewala nnyo okumutaataaganya mu mirimu gye kyenva mpitirako mu bifo eby’enjawulo okuyisa ku budde.

Nnyumirwa nnyo omuzannyo gwa ‘puulu’, omupiira n’okunyumyamu ne bannange ku
nsonga ezitali zimu. We ntuukira awaka ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, nsanga byonna biteredde okuli emmere, amazzi g’okunaaba n’ebirala.

Enkola eno ne munnange temukosangako okumala ebbanga ery’emyaka omunaana gye twakamala mu bufumbo bwaffe kubanga simuwulirangako nga yeemulugunya,” bw’atyo bw’agamba.

BANNADDIINI KYE BAGAMBA:
Sheikh Muhammad Zairwa akwanaganya emirimu ku muzikiti gwa Arua Park mu Kampala agamba nti Allah yagabanya olunaku olw’essaawa 24 kyenkanyi.

Essaawa 8 za kukola mirimu gya bulijjo, essaawa 8 za kumusinza nga n’essaawa endala 8 za kuwummula n’okubeerako n’ab’omu maka gaffe. Zairwa agamba nti Obusiraamu
bukuutira omusajja obutasussa ssaawa 6 ogw’ekiro nga tannatuuka waka.

Agamba nti omusajja olumaliriza swala ya ‘Isha’ esembayo etandika ku ssaawa 2 ez’ekiro
aba alina okudda awaka okubeerako n’abantu be wamu n’okuwummula.

Ayongerako nti omusajja bw’amala okufuluma enju n’atuuka mu kibuga, Obusiraamu
tebumukkiriza kuddayo waka nga tamaze kubategeeza.

Rev. Muwonge Nsinsi ow’Obusumba bw’e Kawempe agamba nti ekigaana abasajja okudda awaka amangu bwe butabaawo mukwano n’enkolagana nnung’amu mu maka.

Awa abafumbo amagezi okutambuliza obufumbo ku musingi

Abakazi obutaba waka kireetera abasajja okulwayo
TEOPISITA Naava 65 (ku kkono), omutuuze w’e Bukalango, Wakiso agamba nti abasajja ab’edda obutafaanana ba mulembe guno abeetooloddwa ebiduula tebaalwanga nnyo bweru.

“Owange Eriazaali Kabengwa olwamalirizanga emirimu gye egy’emisana ng’ayitako mu mikwano gye n’okunywamu ku mwenge omutonotono.

Ssaawa bbiri zaamusanganga waka.

Buli kimu ng’ansanga nkiteeseteese bulungi. Amazzi g’okunaaba n’ekyeggulo nnabimuwanga ku
ssaawa ssatu era olwamalanga okulya ne tudda ku leediyo Uganda okuwuliriza pulogulaamu ennyuvu ezaabeerangako.

Ku mulembe guno ekigaana abasajja okudda awaka amangu be bakazi nabo bennyini obutabeera
waka.

Bangi bayingira na nsiri n’omusajja kwe kusalawo okubaako gy’ayitira okuyisa obudde.

Okumalawo ekizibu kino, omukazi akola yandibadde tasussa ssaawa 12:00 nga tannatuuka waka.

 

 

Omusajja okudda awaka ‘leeti’ kiraga omukwano oguserebye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...