TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja ataweza nnusu weekwate bino owangaaze laavu yammwe

Omusajja ataweza nnusu weekwate bino owangaaze laavu yammwe

Added 19th May 2015

Omusajja omwavu bw’awulira bino, bw’aba tannawasa yeebuuza nti ddala omwavu anaawasa? Ate abaawasa edda, nga ssente zikyagaanyi omutima ne gubadda ku mutwe, nga balowooza nti essaawa yonna bakazi baabwe banoba. Era waliwo n’ababisibye nga tebakyasobola bwavu. Waliwo n’enjogera eriwo ennaku zino

NJAGALA omusajja alina ssente, nga yazimba, alina omulimu gwÕobuvunaanyizibwa, nga mwetegefu okumwanjula mu bakadde bange, ankolere ne bizinensi....Ó Ebyo bye bimu ku bisaanyizo abawala n’abakazi abanoonya bye bakulembeza.

Omusajja omwavu bw’awulira bino, bw’aba tannawasa yeebuuza nti ddala omwavu anaawasa? Ate abaawasa edda, nga ssente zikyagaanyi omutima ne gubadda ku mutwe, nga balowooza nti essaawa yonna bakazi baabwe banoba. Era waliwo n’ababisibye nga tebakyasobola bwavu.

Waliwo n’enjogera eriwo ennaku zino nti; "Abakazi mbuzi, atalina muddo tagirunda!"

Wano abakugu abakwatibwako we bakuweeredde obukodyo bw’osobola okukozesa okukuuma omukwano mu maka, wadde nga ssente zikyakwekubya mpi.

Peter Sserebe 26, ne Evelyn Buyinza, ab’e Bulamu, Gayaza nga bali mu mukwano. Bagamba nti
okwesigang’ana y’empagi enkulu kwe batambuliza obufumbo bwabwe bwe baakamalamu emyaka ena.

Patrick Lukandwa, omukugu mu kubuulirira abafumbo, okuva mu kitongole kya ABC Education Consultants and Applied Counseling Services bino by’akuwadde:

1. Nga temunnafumbiriganwa kirungi buli omu ayige munne. Ekireese obuzibu nti abaagalana tebeewa budde kweyiga. Y’ensonga lwaki oluusi beesanga n’abantu abatasobola kugumiikiriza.

2. Olina okwessa mu mbeera nga munno akulaba ng’omukono gwe ogwokubiri, ekitegeeza nti w’otoba tabaawo. Kibo okituukako ng’omussaamu ekitiibwa era buli ky’akukolera mulage nti osiima.

3 Beera mwerufu mu by’okola. Munno bw’aba akimanyi nti embeera si nnungi ky’okka n’okimutegeezaako kimugumya. Ate lw’oba ofunyeeyo era mugambe. Kino kijja kumukuuma nga mumativu, wadde mu maka temuli ssente.

4 Muwe essuubi ly’okufuna ku ssente ekiseera kyonna. Kino kitegeeza nti olina okuba omuyiiya. Teri mukazi ayagala musajja atalina ssuubi lya kufuna kasente.

5 Musseemu ekitiibwa era mwogere ku pulaani z’omu maaso. Kino kijja kumukuumira awaka ne bw’otoomuwe ssente nnyingi, kasita ofuna ezimubeezaawo.

6 Weesibe ku birungi by’olaba mu munno era buli kiseera obimujjukize. Kino buli mukyala akyagala era bw’onookimuwa tajja kuwankawanka.

7 Mutwale ng’ekyamaguzi ky’otunda. Kino kikole ng’otambula naye, omwanjule mu bantu. Ne bwe wataba ssente, kyokka nga munno akimanyi nti alina ky’akugattako okubeera naawe, omukwano gunywera.

8 Ssente entono eziriwo muzisaasaanye mwembi. Kino kijja kubayamba emitima okutebenkera nti wadde ssente mulina ntono, naye zibakwatako mwembi.

9 Waliwo ebintu ebitono ebitagulwa ssente by’oyinza okwettanira ebigumya omukwano era nga tebitwala ssente nga okuzannyako mwembi nga ludo, oba Chess. Essanyu ly’anaafuna ng’akuwangudde, lijja kuba ssuffu.

Bwe nfuna ssente munnange antabukira
NZE Lule Lwanga (ku kkono), mbeera Makindye Lusaka. Nkola gwa busuubuzi mu kibuga era nga ndi musajja mufumbo.

Wadde tukola tufune ssente era tube n’essanyu mu maka, naye kye nazuula nti ssente si ze zireeta essanyu era tezigula mutima. Owewange buli lwe nzifuna ate tutabuka butabusi.

Embeera yange mu by’ensimbi ssi y’ennungi kuba obwavu oluusi bunnumira ddala. Kyokka mu kiseera nga sirina wadde ekuba ennyonyi, munnange w’asingira okunjagala.

Olwo bwe nfuna ku kasente ate ne tufuna obutategeeragana kuba ne bwe mmukolera ekirungi abeera ansuubiramu kinene.

Ye leero bw’ansaba ekintu ne sikimuwa alowooza nti mmummye bummi, ekintu ekitali kituufu, era tetuggwa mu ntalo. Ebiseera bye nsinga okubeerera mu buzibu andaga nti afaayo nnyo, era bwe ndwala tuba bumu era tandekererangako.

Obwavu buyamba abantu okukwatagana kuba muba mugatta ebirowoozo ne musalira wamu amagezi.
Ekikulu kye nnazuula kwe kuba omwanjulukufu eri munno ng’omulaga ekituufu ku nfuna yo amanye ekituufu.

BANNADDIINI BYE BAGAMBA:
Msgr. Wynand Katende omwogezi w’essaza lya Kampala agamba nti abafumbo balina okumanya nti obufumbo buva wa Katonda. Bwe mufumbiriganwa, muba musazeewo okweyagaliza, era buli omu alina kusooka kuyiiyiza munne awatali kulinda.

Buli omu kikukakatako okwewa munno, si nsonga oba waliwo ssente oba tewali. Ekisumuluzo ky’omukwano si ssente, wabula kwagala kwa Katonda.

Abaagalana mulina okwekwasa Katonda mu buli kimu, kuba y’ensibuko y’okwagala era y’akunyweza. Omukwano bwe gubaamu Katonda, teguyinza kuyuuga lwa bbula lya ssente.

Ate Sheikh Hassan Kirya omwogezi w’obukulembeze bw’e Kibuli agamba nti “Obusiraamu butukubiriza okuwasa nga tufunye obusobozi, kuba obufumbo bulimu okulabirira omukyala n’okumubeezaawo.

Nabbi Muhammad (SAW) yatukubiriza abatannaba kufuna busobozi okugira nga tusiiba, era atalina busobozi ku ntandikwa si kirungi kuwasa.

Kyokka olumu omusajja ayinza okubeera n’obusobozi, naye ate oluvannyuma ne buggwaawo. Kyokka nakyo tekiyinza kuterebula mukyala, bw’aba nga ddala mu mbeera ennungi, ssente zo abadde azeeyagaliramu. Kino kituyigiriza okweyagalira mu ssente awamu ne bakyala baffe nga tetubalese mabbali.”

Omulabirizi w’e Mukono eyawummula, Eria Paul Luzinda yagambye nti, “Mu bufumbo ssente si kye kikulu, wabula okubeerawo laavu kusobola okutambuza buli kimu ne mweyagala.

Eno y’ensonga lwaki omukyala ava mu maka amagagga n’agenda afumbirwa omusajja omwavu era ne bawangaala.

Ekizibu nti abantu bwe baba bafumbiriganwa bagenda nnyo ku bintu by’oku ngulu omuli ssente, endabika n’ebyenfuna . Kyokka waliwo ebintu bye tusobola okwekwatako ne bigumya obufumbo bwaffe omuli eddiini n’obuwangwa.

Ekizibu kiri nti abantu baagadde nnyo eby’amangu, ate abalala tebakyayagala kukola y’ensonga lwaki abavubuka kati banoonya bakazi abalina ku ssente.”

 

 

 

Omusajja ataweza nnusu weekwate bino owangaaze laavu yammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...