TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okugenda ew'omusajja njagala kusooka kukula mu birowoozo

Okugenda ew'omusajja njagala kusooka kukula mu birowoozo

Added 3rd June 2015

NZE Becky Ssempa 23, mbeera mu kibuga ky’e Wakiso.Okuva lwe nnayingira ensonga z’omukwano ne mwanamulenzi sikyalina waasiwaasi.

 NZE Becky Ssempa 23, mbeera mu kibuga ky’e Wakiso.Okuva lwe nnayingira ensonga z’omukwano ne mwanamulenzi sikyalina waasiwaasi. 

Yandaba nkyali muwala muto n’ansiima era n’andabamu ekifaananyi ky’obufumbo.

Eno y’ensonga lwaki yampeerera okutuusa lwe nnamaliriza kkoosi y’okufumba mu 2013.

 Amangu ddala ng’emisomo gyange giwedde yakkiriza okutuukako mu bakadde bange ne bamumanya n’omukwano gwaffe ne bagukooneramu ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Wabula newankubadde tuli mu mukwano omuzito, sinneesitula kugenda wuwe mu butongole.

Nkyabeera mu bakadde bange nga kye njagala kwe kusooka okweteekateeka obulungi naddala nga mmaze okuweza emyaka 25 lwe nnaawulira nga nkuze ekimala okusobola obuvunaanyizibwa bw’amaka. 

Nkimanyi bulungi nti omuntu bw’oba okyalimu obuto oyinza okulemwa okubaako ebintu by’okola ebitwala amaka mu maaso.

Nkakasa nti we nnaawereza emyaka gino nja kuba mukazi atuuludde, aweddemu obuyaaye bw’ekivubuka era ayawula ekirungi n’ekibi.

     Okusinziira ku bintu ebingi mwanamulenzi by’ankoledde siyinza kumuvaamu era musuubiza omukwano ogutaliva ku mulamwa.

Mmusaba okwongera okuba omugumiikiriza kubanga ekiseera nsigazza kitono okuyingirawo olwo ntandike okumufumbira nga sirina ankuba ku mukono.

 

Okugenda ew’omusajja njagala kusooka kukula mu birowoozo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...