TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwawula ebitanda kyongera obwagazi mu bafumbo?

Okwawula ebitanda kyongera obwagazi mu bafumbo?

Added 23rd June 2015

EKITANDA kye kimu ng’ekimu ku bintu ebisinga okugatta abafumbo. Era abagole bwe baba bateekebwateekebwa kino kirambikibwa bulungi. Abafumbo basuubirwa okusula mu kisenge kimu era ku kitanda kimu, kubanga baba bafuuse muntu omu.

 

Tumaze emyaka 10 nga buli omu asula yekka

JOHNSTONE Musoke Sserwadda,70 n’owuwe Maggie Musoke, 52 abatuuze b’e Nansana mu Ochieng Zone bamaze mu bufumbo emyaka egisukka 30 era bagamba nti mu myaka mitono egiyise baasalawo okwawula ebitanda olw’ensonga ezitali zimu.

“ Omuntu bw’ogenda okula, omubiri gunafuwa bw’otyo n’otawaanyizibwanga endwadde ezitali zimu. Mu mbeera eno oba weetaaga kusula wekka olw’obutayagala kukaluubiriza munno omulamu.

Mu ngeri endala ne mu biseera by’obukoowu waliwo lw’owulira ng’oyagala kusula wekka osobole okuwummula obulungi.

Eno y’ensonga lwaki twasalawo emyaka nga kkumi egiyise okuteeka ekitanda ekyokubiri mu kisenge kyaffe.

Wabula kino twamala kukikkiriziganyaako ng’abafumbo y’ensonga lwaki tekirina ngeri yonna gye kikosaamu mukwano gwaffe.

Mu mbeera endala eteriimu bukoowu na bulwadde, tusula wamu ku kitanda kyaffe. Tuyinza n’okumala ebbanga nga tukozesa ekitanda kimu

EKITANDA kye kimu ng’ekimu ku bintu ebisinga okugatta abafumbo. Era abagole bwe baba bateekebwateekebwa kino kirambikibwa bulungi. Abafumbo basuubirwa okusula mu kisenge kimu era ku kitanda kimu, kubanga baba bafuuse muntu omu.

Naye okimanyi nti abafumbo abawerako balina ebitanda bibiri mu bisenge byabwe? Abakoze kino balina ensonga zaabwe.

Abamu kiva ku omu okufuna obulwadde obutamuganya kubeera na
munne olw’okumuleetera ebbugumu, abakyala bwe bafuna embuto oluusi baawula ebitanda, ate bwe bazaala nga balina okwebaka ne bbebi ne basula ku kitandaekirala n’ensonga endala nnyingi.

Sarah Nakabugo omukugu mu kubudaabuda abantu mu ddwaaliro e Kiboga agambanti abafumbo buli omu bw’asula ku kitanda ekikye kimalawo okwegatta okutali kutegekere.

“Ekimu ku bireetera abafumbo obutanyumirwa kaboozi kwe kwegatta naye nga tekibadde mu pulaani.

Abasajja abamu bw’abulwa otulo olwo ng’akyukira munne beesanyuse kyokka nga tasoose na kumutegeka.

Ekivaamu kwe kunyumya akaboozi ak’okutuusa oluwalo naye nga tewali bwagazi. Mu bafumbo abaawula ebitanda kino tekibaawo.

Omu bw’aba ayagala omukwano alina okutegeeza munne mu bigambo oba mu
bikolwa. Mu ngeri eyo buli lwe beegatta omukwano gweyongeramu ebbugumu,” bwatyo Nakabugo bw’annyonnyola.

Agattako nti ebiseera ebisinga abasajja baba n’ebibatawaanya bingi. Bw’aba yekka mu buliri kimuwa omwagaanya okulowooza ku nsonga ez’enjawulo nga talina kutaataaganyizibwa.

Mu ngeri eyo kimuyamba n’okukola pulaani y’olunaku oluddako nga talina kimuwugula.

Ekirala abafumbo abasula mu kitanda ekimu oluusi batuuka ku ssa ly’okumanyiiragana nga buli omu takyalina kipya ky’alaba mu munne
olw’okuba nga baba beegatta buli kiseera.

Ayongerako nti abafumbo obuteenyigira nnyo mu nsonga z’akaboozi buli kiseera kitondawo embeera y’abafumbo okusigala nga buli omu ayaayaanira
munne ebbanga lyonna.

Ekirala abafumbo naddala bwe baba nga bakola, buli omu bw’asula
Yekka kimuwa obudde okuwummula obulungi ne beetegekera olunaku olulala.

Abafumbo abamu abali mu mbeera eno beesanga nga buli omu asula
yekka mu wiiki yonna, olwo ne basula bombi mu nnaku za wiikendi nga tebalina bya kukeera nnyo kugenda ku mirimu.

Ate era embeera eno eyamba nnyo abakyala abakuliridde mu myaka naddala
abatakyagenda mu nsonga ababa batakyanyumirwa nnyo nsonga za bufumbo za buli lunaku.

Nakabugo agamba nti omukyala atuuse mu kiseera kino ensonga z’ekisenge aba tazirowoozaako nnyo.

Y’ensonga lwaki kimwetaagisa okusula yekka ne kimuwonya okwenyigira mu bikolwa by’obufumbo ebya buli lukedde.

Ayongerako nti okwawula ebitanda kuyamba abaana okukula nga tebamanyi kigenda mu maaso wakati wa bazadde baabwe oluusi ekiyinza n’okubawonya okwonooneka.

Abaana ba leero bagezi nnyo era buli lwe balaba bazadde baabwe nga basula ku kitanda ekimu bafuna ekifaananyi nti okusula n’omuntu kyabulijjo.

Wabula wadde biri bityo, Nakabugo gamba nti abafumbo okusula mu kutanda
ekimu kirimu ebirungi bingi okugeza;

1 Kikuuma omukwano mu ngeri ey’enjawulo. Omuntu bw’asula ne munne ku lusegere akkiriza nti ‘ono ye wange’.

2 Abafumbo abasula awamu bawummuza ebirowoozo. Omuntu bw’aba
ne munne ku lusegere kimuyamba okukkakkana n’okuwummuza ebirowoozo
olw’okuba n’obusobozi obwogera ku nsonga ezibaluma okusinga omuntu ali
e bunaayira.

3 Kibayamba okuteesa n’okukkaanya. Obutakkaanya mu okuggwaawo singa abafumbo abakwatibwako basinziira ku kitanda kyabwe okubwogerako.
Empuliziganya eba ya maanyi mu bafumbo abasula ku kitanda ekimu.

4 Ekitanda ekimu kireeta obwagazi. Akabugumu akabaawo wakati w’abafumbo kabaleetera obwagazi n’ekiddirira kwe kunyumirwa ensonga z’omukwano ezitambulirako ensonga z’obufumbo.

5 Kituukiriza etteeka lya Katonda. Eddiini egamba nti Katonda ky’agasse awamu teri alina buyinza kukigattulula. Mu mbeera eno ekitanda ekimu kiggyayo embeera y’abafumbo n’ekigendererwa kya Katonda eky’obufumbo.

6 Kiwa abaana ekifaananyi ekirungi.Buli baana lwe balaba bazadde baabwe
nga basula ku kitanda ekimu, kibawa ekifaananyi nti waliwo enkolagana
ennungi wakati waabwe ne kibayamba okumanya engeri omukwano
omutuufu gye gulina okutambulamu.

BANNADDIINI KYE BAGAMBA:
Sheikh Badru Buyungo Imam w’omuzikiti gw’e Kakiri agamba nti;
Eddiini ekkiriza omuntu mu butonde awulira ng’akaluubirizibwa okusula ne munne ku kitanda ekimu okwawula ekitanda n’asula yekka.

Wabula agamba nti omufumbo akoze kino alina okulowooza ku munne n’obutamulumya mu nsonga z’obufumbo.

Buyungo ayongerako nti kino ng’abafumbo balina okukikkiriziganyaako
era abafumbo tebalina kwawula kitanda olw’obusungu.

Agamba nti Obusiraamu tebukkiriza musajja kuzira mukazi we n’amuleka okusula yekka. Rev. Edward Ggombe ow’Obusumba bw’e Luzira agamba nti Bayibuli tevaayo butereevu ku nsonga ddi abafumbo lwe bandyawudde ebitanda naye mu nkola entuufu kirungi abafumbo ne baawula ekitanda mu
bbanga ery’emyezi esatu ng’omukazi yaakaala.

Mu ngeri endala mu kiseera omukazi w’abeerera mu nsonga ze ez’ekikyala kiba kirungi n’asula yekka okwewala okutaataaganyizibwa.

Wabula mu mbeera eza bulijjo, kirungi abafumbo okusula ku kitanda ekimu
lwa nsonga nti ne bwe baba basoowaganye kibayamba okuteesa n’okukkaanya.

Msgr.Wynand Katende omwogezi wa Klezia mu Ssaza ekkulu erya Kampala agamba nti Klezia teyingira mu bisenge by’abafumbo naye esomesa abantu nti bwe bafumbiriganwa buli omu afuuka wa munne.

Mu mbeera eno Klezia ekubiriza abafumbo buli omu okwewa munne n’okukola ebyo bye balaba nga bikuuma omukwano wakati waabwe okusinga okubaawula. Ebakubiriza okusalawo kwonna okukola nga bayita mu kuteesa n’okukkaanya.

Temwawula bitanda lwa busungu
Lwe nnadda mu kitanda ne baze nnali nga mugole’
NNAALONGO Eva Nambalirwa ow’e Namasuba, Kakajjo agamba nti bwe yazaala ne baawula ekitanda ne bba. Wabula lwe yaddayo okusula awamu naye yakirako omugole.

“Olwava mu ddwaaliro nga mmaze okuzaala abalongo, nnali sisobola kusigala ku kitanda kyaffe n’abaana baffe. Twafuna ekitanda ekirala ne nkiteeka mu kisenge olwo ne nsulanga okwo n’abaana munnange ne mmuleka okusula yekka.

Wabula oluvannyuma lw’emyezi esatu ng’abaana bakuze, twabafunira ekitanda ekirala nze ne nzirayo ku kitanda kyaffe okusisinkana munnange.Wabula ku lunaku olwo twakirako abaali baakalabagana.

Buli kimu kumpi kyali kipya era siyinza kwerabira kiro ekyo. Kino kitegeeza nti abafumbo okwawula ekitanda oluvannyuma lw’ebbanga eggere kikuuma ebbugumu mu bufumbo ne butava ku mulamwa.
Nkubiriza abafumbo okukigezaako kijja kubakolera.

 

Okwawula ebitanda kyongera obwagazi mu bafumbo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...

Mutebi (mu katono) ng’alaga amabwa ku kabina ke.

Abajaasi abalwanyisa envuba...

ABAVUBI babiri ku mwalo gw’e Wanyange mu Ggombolola ye Mafubira e Jinja bakigguddeko, abajaasi abalwanyisa envuba...

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...