TOP

Cotilda weebale kundaga mukwano

Added 19th August 2015

SIMANYI ngeri gye nnyinza kunnyonnyola mukwano gwange ne mwana muwala gwe nnina. Amazima buli lunaku omukwano gwaffe gweyongera era y’ensonga lwaki nfunye ku kanyama. Nze Ronald Lugumya Mbeera Kalagi- Nakifuma.

SIMANYI ngeri gye nnyinza kunnyonnyola mukwano gwange ne mwana muwala gwe nnina.

Amazima buli lunaku omukwano gwaffe gweyongera era y’ensonga lwaki nfunye ku kanyama. Nze Ronald Lugumya Mbeera Kalagi- Nakifuma.

Abatamanyi mukwano kino bayinza okukayita akajanja oba okutijja kw’omukwano gw’ekivubuka, kyokka nga ge mazima. Kuba ono omwana Katonda yamumpeesa emikono ebiri era kirabo kyennyini. Kati emyaka musanvu nga ndi ne mwana muwala, Cotilda Nalubega.

Okutandika omukwano guno, twasisinkana ku kyalo gye tubeera era we twakulira. Wabula kiba kizibu okumatiza omuntu gw’okuze naye ku kyalo ng’akulaba naawe omulaba.

Nnamusonsekanga obugambo wabula nga nninga ayiwa ensaano ku mazzi nga siraba bw’akyukako. Kino tekyammalaamu maanyi kwe kusalawo okugenda mu maaso nga mmutonera obulabo n’okumusonseka obugambo obuwooma okutuusa lwe nnamutengula omutima n’akkiriza.

Amangu ddala nga tumaze okukkiriziganya era ng’omukwano gwaffe gutandise okutunyumira, nnamusaba tubeere ffembi tulinnyise omukwano gwaffe eddaala.

Yabitegeeza bakadde be ne tutandika okubeera ffenna newankubadde tetunnagenda mu butongole.

Nneebaza bakadde ba mukyala wange kuba tuli bavubuka naye mwana muwala ono Owengabi baamukuza bulungi. Alina empisa, mukazi mukozi, muyiiya, mugumiikiriza, muwulize ate muwabuzi. Bino bikoze kinene okutukuumira mu bufumbo bwaffe buno.

Newankubadde ng’obufumbo bubaamu okusoomoozebwa okw’enjawulo naye olw’obusirise, okukwata empola wamu n’okuteesa bisobodde okutukuuma ate ne Katonda n’atuwa ezzadde era nga tusuubira n’okuzza ku mwana essaawa yonna.

Nalubega nkusuubiza nja kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna omuli okukuzimbira amaka, okukyala mu bakadde awamu n’okugumira ku ggwe wekka kuba osobodde okubaawo ku lwange mu buli kimu nga taata w’abaana bo.

Newankubadde nnazaalako ebbali abaana babiri naye nkusuubiza nti ggwe kati kwe ngumidde era y’ensonga lwaki nkitadde ne mu lwatu buli omu amanye nti gwe wange.

Cotilda weebale kundaga mukwano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...