TOP

Baze yagaana okwekebeza

Added 13th October 2015

OMUSAJJA eyansiiga akawuka yankwata bukwasi.

OMUSAJJA eyansiiga akawuka yankwata bukwasi. Nze Florence Nakabuye 43, mbeera Kisanga e Bamunaanika. Nafuna akawuka mu 1988.  

Mu biseera ebyo nnalina emyaka 16 gyokka, nga mbeera ne jjajja e Kikyusa mu Luweero oluvannyuma lwa bazadde bange okufa. 

Oluvannyuma lw’omusajja okunkwata, bankebera nga nnina olubuto era ne bazuula nti ansiize akawuka ka siriimu.

Baamunoonya n’abula era n’okutuusa kati taddangamu kulabwako ku kyalo. 

Mu biseera ebyo, nnali sirina kye mmanyi ku bulwadde bwa siriimu kuba nnali muto ne nzaala omwana.

Baatandika okumpa eddagala egganda naye omwana wange bwe yaweza emyaka ebiri, ngenda okuwulira ng’abantu ku kyalo bagamba nti omusajja eyankwata yali mulwadde. 

Nnajjukira omusawo bwe yayogera nga tuli mu ddwaaliro kwe kuddamu okwekebeza ne nkakasa nti nnina akawuka ka siriimu.  

Mu 2001, natandika okunywa eddagala e Mulago ne Naggulu nga nva Mpererwe era ne mbeerawo nga sirina buzibu bwonna. 

Abaana bange bonna abaddako mbazadde ndi ku ddagala naye omwana wange owookuna bwe yaweza emyezi esatu, ekisipi kyankuba mu kiwato. 

Nnabutuka mu kiwato nga nninga ayidde omuliro kyokka nga munda mumbabuukirira n’okumbugujja.

Kyammalako omwezi gumu ne nfuna obujjanjabi ne kigenda. 

Kyanziramu mu 2006 era kyo kyagenda mangu kuba nnafuna mangu obujjanjabi. Kati amagulu ge gannuma ne mu nnyingo okummeketa mpozzi n’engalo n’ebigere okunsiiwa.  

Okusoomoozebwa kwe tulina ne taata w’abaana kwe kuba nti amanyi obulamu bwange bwe buyimiridde kuba eddagala ndimira andaba. Wabula mmwesibyeko okugenda mu ddwaaliro bamukebere atandike eddagala oba bw’aba omulamu tusale amagezi aleme kufuna kawuka naye agaanyi. 

Ate tayagala kukozesa kondomu era lumu bazitugabira tuzikozese naye yazigaana.

 

Baze yagaana okwekebeza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...