TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Amateeka g'okwegatta agatali mawandiike g'otasaana kumenya

Amateeka g'okwegatta agatali mawandiike g'otasaana kumenya

Added 5th January 2016

Waliwo amateeka g’okwegatta agatali mawandiike g’osaana okugoberera ng’osinda omukwano n’omwagalwa wo.

 Bano baabadde mu kifo ekisanyukirwamu nga baliko bye bateesa.

Bano baabadde mu kifo ekisanyukirwamu nga baliko bye bateesa.

Waliwo amateeka g’okwegatta agatali mawandiike g’osaana okugoberera ng’osinda omukwano n’omwagalwa wo. Singa ogamenya mu kiseera ng’oteekateeka munno okwegatta oba nga mumalirizza emirundi egisinga kitta ekyoyerezi ky’okwagala okwegatta. Okusinda omukwano kwetaaga embeera y’obukkakkamu n’obutanonooza kino na kiri bwe mubeera mwagala okwesa ekyeso ekisuffu.

1 Okugaya sayizi ya munno.

Abakazi abamu batera okugaya sayizi y’omusajja n’amulagirawo nga bw’atagenda kumutuuka wala abasinga kye baakazaako erya ‘Kajiiko mu ggama’. Kino kimalamu omusajja amaanyi era bw’atabeera wa mbavu nnyo ensiitaano eyinza n’okumulema.

2 Okukwata n’okukebera essimu:

Okusinda omukwano kwetaaga obwongo obukkakkamu obutayingiziddwamu nsonga ndala oba abantu abalala. Kyandibadde kirungi okuggyako essimu nga mugenda okusinda omukwano kuba bw’evuga nga muli mu kyeso oba ng’oteekateeka munno okwesogga ensiitaano kitera okutaataaganya obwongo ne buva ku mulamwa. Watya nga waliwo akubikira oba nga webbye bwebbi ng’omwagalwa ow’awaka y’akubye essimu. Ate n’okutandika okukebera essimu nga mugenda mu nsiitaano oba nga mumalirizza kireetera munno okuwulira ng’aggyiddwaako ebirowoozo n’obizza ku kintu ekirala.

3 Embeera y’obuyonjo

Obuyonjo kintu kikulu mu nsiitaano y’omukwano bw’oba oyagala onyumirwe ne munno. Abantu abamu basakaatira mu bitundu ebyekyama era munne bw’amukubako eriiso kiyinza okumukanga n’akutunuulira ng’omujama. Abalala tebanaaba ne babeera nga bavaamu olusu omumalako bannaabwe emirembe. Bwe gutuuka ku basokoola ennyindo, abayisa omukka mu kiseera ky’okusinda omukwano oba ng’oteekateeka munno nabyo bitta obwagazi bwa munno.

4 Okutamiira ekisusse

Wadde abasajja abamu baagala bakyala baabwe banyweko ku bitamiiza nga ku bbiya, wayini n’ebirala okusobola okweta obulungi n’okuggwaamu ensonyi, abakazi abamu beekokkola abasajja abanywa ne bagangayira nga bagamba nti bwe batuuka mu kitanda bafubutuka bufubutusi ne batabateekateeka kimala ate abalala ne bavuyabuvuya.

5 Okussaako ttivvi

Okusinda omukwano kwetaaga obwongo obutebenkedde era buli lw’okuteekamu ekintu ekirala oyinza okuva ku mulama ne bigaana. Abantu abamu balina omuze gw’okuteekako ttivvi nga basinda omukwano oba nga bateekateeka bannaabwe okusinda omukwano. Kino kivaako obwongo bw’omuntu okuwukuga n’ava ku mulamwa singa wabaawo eikiragibwa ku ttivvi.

6 Okuddukira mu kinaabiro.

Abantu abamu balina omuze gw’okudduka mu kinaabiro okunaaba amangu ddala nga yaakava ku munne oba okweraba mu ndabirwamu okumanya bw’afaanana. Kibeera kitegeerekeka nti oyogala obuyonjo naye kyetaaga okuwambaatira munno nga mwakamaliriza ensitaano n’omubuuza engeri gy’ebadde n’okumwebaza.

7 Okudduka okwambala

Waliwo abalina omuze gw’okudduka okwambala nga baakamaliriza okwegatta. Abamu babeera beekwasa nga bwe bakeereye, abalala nti bagenda ku mirimu oba okwewala okubasanga naddala ku mukwano ogw’okubbirira. Kisaana oweeyo munno eddakiika nga ziizo n’otobeera ng’abbye obubbi.

8 Okubudaabuda munno;

Abaagalana abamu balina omuze gw’okugwa eri n’atandika okufuluuta nga tobuzeebuze munno. Kino kimalamu amaanyi n’obeera ng’atasiimye munno. Osaana okumubudaabuda n’awulira nti asiimiddwa n’okufiibwako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...