TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja olwamunenyezza n'angoba awaka

Omusajja olwamunenyezza n'angoba awaka

Added 6th January 2016

Nze Oliva Birungi mbeera Wamala-Katooke. Ebbanga lye mmaze n’omwami wange abadde tandaga mize gye naye akyuse mu kiseera kitono mu ngeri gye sitegeera.

OMUSAJJA okukugoba awaka ku lunaku lw’obadde osuubira okufunirako essanyu kiyungula amaziga! Abasajja singa bakimanyi ku nnaku enkulu zino bandibaddenga bongeza omukwano ate ne bwe kubeera kukola bandikwesonyiye ne basigalako naffe bamaama b’abaana ne tusanyukako nabo.

 

Nze Oliva Birungi mbeera Wamala-Katooke. Ebbanga lye mmaze n’omwami wange abadde tandaga mize gye naye akyuse mu kiseera kitono mu ngeri gye sitegeera.

 

Omusajja alina omulimu gwa buvunaanyizibwa era bw’omusanga olabira ddala omuntu ow’obuvunaanyizibwa. Tubadde ffenna ebbanga lya myaka musanvu nga tufuniddemu abaana babiri abakyali abato.

 

Baze mbadde nsazeewo mbeere naye yadde akyusizza mu mpisa ze kuba abadde ampa ekyokulya abaana bange ne babeera bulungi.

 

Ensonga empitiriddeko ya kunkuba buli kiseera ku kintu kye mbeera nneemulugunyizzaako.

 

Ku Kulisimaasi yansiibula ng’agamba nti agenze kugirya ne bazadde be.  Safaayo kyokka yamalayo ennaku eziwera wabula bwe nnamubuuza lwaki aluddeyo ne nduggulira ku ppata! Ku olwo lw’agenda teyatulekera buyambi bwonna wabula bwe nnakutte  ku ssente ngulire abaana ekyokulya, n’anyiiga n’ankuba n’andagira  nzire ewaffe.

 

Okudda ewaffe tekyandibadde kikulu naye abaana bange nnaabakola ntya? Yagambye nti ankooye ne ssente z’entambula yansuubizza kuzinsanza ku poliisi. Kati nfumiitiriza abantu abaatandikira mu mukwano kati ensonga ayagala tuzimalire ku poliisi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...