TOP

Kitaawe w'omwana anneegaanyi

Added 13th January 2016

Ekindeetedde okwejjusa omukwano gwa Robert eyansuubiza n’okumpasa ye mwana kumpi ansuza seebase. Robert yammatiza nga bw’atalina mukazi olwo n’ansuubiza okunkuba empeta.

 Namuli n’omwana we.

Namuli n’omwana we.

ABAWALA oluusi tugwa mu nsobi olw’okupapira omukwano ne tutasooka kwekenneenya bantu be tugenze nabo. Nze Hasfa Namuli, 32, nga ndi mutuuze w’e Kakiri mu disitikiti y’e Wakiso.

Kwali kupapa mu mukwano okwandeetera obuyinike bwe nnina ku mutima. Waliwo omuzimbi eyanfunyisa olubuto ng’azze okukola ku sayiti emu okumpi n’awaka.

Weewuunye omusajja ono yannimba omukwano kyokka ewaffe nga tuli bulungi kuba nali ndabirirwa nga n’okupangisa sipangisa.

Ekindeetedde okwejjusa omukwano gwa Robert eyansuubiza n’okumpasa ye mwana kumpi ansuza seebase. Robert yammatiza nga bw’atalina mukazi olwo n’ansuubiza okunkuba empeta.

Engeri gye yali ankakasizza okumpasa saafaayo ne mmuteera omukwano okukkakkana ng’anfunyisizza olubuto.

Mu myezi esatu nga nkakasizza nti ddala ndi lubuto bwe nategeeza munnange ku nsonga eno yatandika okwefuula n’ategeeza ng’olubuto bwe lutali lulwe n’aηηamba ndekere awo okukuba ku ssimu ye.

Mu kusooka nalowooza nti osanga simusanze mu mbeera nnungi naye okuva olwo yaggyako essimu ye nga n’okutuusa kati simanyi kimufaako. Ndi mu bbanga kuba simanyi waabwe gye bamuzaala wadde ewuwe gy’asula.

Ekizibu omwana yatandika okulwala era bwe namutwala okukeberebwa mu ddwaaliro e Mulago ne bantegeeza nga bw’alina ekituli ku mutima.

Abasawo e Mulago baηηamba nti kyetaaga obukadde 70 okutwala omwana ono mu Buyindi okulongoosebwa.

Wabula sirina ssente ate omwana alumizibwa kuba waliwo kumpi lw’asula ng’asinda n’okukaaba ekiro kyonna.

Mpulira njagala nnyo omusajja ono ajje alabe ku mwana we afumiitirize n’obulumi bw’alimu. Bazadde bange bandabiridde ekimala naye nange ndaba nti mbamenya naddala nga kitaawe w’omwana ono gy’ali.

Nsaba Robert ajje tukwasize wamu okutaasa obulamu bw’omwana waffe.

ABAWALA oluusi tugwa mu nsobi olw’okupapira omukwano ne tutasooka kwekenneenya bantu be tugenze nabo. Nze Hasfa Namuli, 32, nga ndi mutuuze w’e Kakiri mu disitikiti y’e Wakiso. Kwali kupapa mu mukwano okwandeetera obuyinike bwe nnina ku mutima. Waliwo omuzimbi eyanfunyisa olubuto ng’azze okukola ku sayiti emu okumpi n’awaka. Weewuunye omusajja ono yannimba omukwano kyokka ewaffe nga tuli bulungi kuba nali ndabirirwa nga n’okupangisa sipangisa. Ekindeetedde okwejjusa omukwano gwa Robert eyansuubiza n’okumpasa ye mwana kumpi ansuza seebase. Robert yammatiza nga bw’atalina mukazi olwo n’ansuubiza okunkuba empeta. Engeri gye yali ankakasizza okumpasa saafaayo ne mmuteera omukwano okukkakkana ng’anfunyisizza olubuto. Mu myezi esatu nga nkakasizza nti ddala ndi lubuto bwe nategeeza munnange ku nsonga eno yatandika okwefuula n’ategeeza ng’olubuto bwe lutali lulwe n’aηηamba ndekere awo okukuba ku ssimu ye. Mu kusooka nalowooza nti osanga simusanze mu mbeera nnungi naye okuva olwo yaggyako essimu ye nga n’okutuusa kati simanyi kimufaako. Ndi mu bbanga kuba simanyi waabwe gye bamuzaala wadde ewuwe gy’asula. Ekizibu omwana yatandika okulwala era bwe namutwala okukeberebwa mu ddwaaliro e Mulago ne bantegeeza nga bw’alina ekituli ku mutima. Abasawo e Mulago baηηamba nti kyetaaga obukadde 70 okutwala omwana ono mu Buyindi okulongoosebwa. Wabula sirina ssente ate omwana alumizibwa kuba waliwo kumpi lw’asula ng’asinda n’okukaaba ekiro kyonna. Mpulira njagala nnyo omusajja ono ajje alabe ku mwana we afumiitirize n’obulumi bw’alimu. Bazadde bange bandabiridde ekimala naye nange ndaba nti mbamenya naddala nga kitaawe w’omwana ono gy’ali. Nsaba Robert ajje tukwasize wamu okutaasa obulamu bw’omwana waffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...