TOP

Baze yannema lwa bbuba

Added 29th January 2016

Namwagala n’omutima gwange gwonna naye ebbuba lye yandaga lyannemesa. Nze Bonniet Iradukunda, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Kisoro naye mbeera Muyenga.

BAYIBULI egamba nti musabenga obutakoowa. Nange nasaba nnyo Katonda ampe omusajja alina ebisaanyizo bye njagala era olwali olwo n’amumpa.

Namwagala n’omutima gwange gwonna naye ebbuba lye yandaga lyannemesa. Nze Bonniet Iradukunda, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Kisoro naye mbeera Muyenga.

Nkola mu wooteeri emu wano mu kibuga. Bwe natuusa ekiseera ekinoonya omubeezi, nasabanga nfune omusajja eyasoma, alina ku ssente ne laavu era essaala zange Mukama yaziwulira n’amumpa.

Omulenzi ono yandya obwongo era laavu yammegga ne nsalawo tutandike okubeera ffembi. Emyaka ebiri egyasooka mu mukwano gwaffe buli kimu kyali kigenda bulungi nga ne mikwano gyaffe batwegomba.

Oluvannyuma ng’omulenzi ategedde byonna ebinkwatako, yatandika okumpisa nga bw’alaba.

Yasooka kugoba masimu agankubirwanga era nga buli lwe tuba ffembi, abeera mu kukebera masimu agankubiddwa ate nga tanzikiriza kukwata ssimu nga ndi naye.

Teyakoma awo, yatandika okukeberanga ‘facebook’ ne whatsapp yange, ekyatutabulanga ne tuyomba. Lumu nali njogera ne mukulu wange ku ssimu naye omusajja olwawulira ekigambo ‘mukwano’, yansika essimu ku kutu n’agikuba wansi era mukulu wange yaddamu okukuba nga teriiko.

Yakuba ku ya baze era wano omusajja we yategeerera nti gwe mbadde njogera naye. Mu busungu obungi, essimu ye nayo yagiggyako okumala ennaku ssatu.

Omusajja yasigala antulugunya mu mpolampola naye olw’okuba nneekolera, ng’ebiseera byange ebisinga mbimala ku mulimu. Nze saamufaako nga ndaba ebimuyombya bya kito.

Yatandika okunzigaliranga mu nnyumba buli ku makya annemese okukola ng’ayagala bangobe ntuule awaka.

Kino yakikola emirundi mingi wabula emirundi 6 egyasooka, ku mulimu nabalimba ensonga ez’enjawulo okutuusa bwe nalaba nga sikyalina kye nnimba mukama wange.

Nalaba kisusse, kwe kunyumizaako mukama wange ku Serena Hotel biki omulenzi ono by’ankola.

Okusinziira ku magezi ge nafuna, nalaba ng’ okusuulawo omulimu ogusasula 800,000/- buli mwezi tekisoboka. Nasalawo okumwesonyiwa era kati nneekolera mmaali yange.

Omuwabuzi ku nsonga z’abantu Joel Isabirye omukozi ku Alpha Medical Clinic ku lw’e Ntebe agamba nti: Okulekawo munno wakola kibi.

Ebbuba eringi si kibi kubanga eyo ebeera laavu nga y’eyitiridde eri omuntu wo oyo. Olwa laavu eyo, omuntu atandika okubeerawo ng’akulaga ekkubo ly’ayagala otambuliremu.

Wandibadde osooka kunoonyereza lwaki akugaana okukola oba lwaki tayagala obeere na ssimu.

Tewali wava mukka nga tewali muliro. Nze ndowooza ggwe wali mu nsobi era bwe wabaawo omukisa, genda omwetondere. Ggwe musobya kubanga munno yali akwagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...